• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda eyagala abatulugunya abantu bavunaanibwe

Gambuuze by Gambuuze
March 7, 2022
in Amawulire
0 0
0
Buganda eyagala abatulugunya abantu bavunaanibwe
0
SHARES
55
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda bwagala  abantu bonna abeenyigira mu bikolwa by’okutulugunya abantu naddala abaakwatibwa ku misango egyekuusa ku by’obufuzi basimbibwe mu mbuga z’amateeka  bavunaanibwe.

Kino kye kimu ku biteeso ebiyisiddwa olukiiko lwa Buganda olwa 29 mu lutuula olwokubiri olutudde mu kisenge ky’olukiiko e Bulange ku Mmande nga lukubiriziddwa amyuka Sipiika Ahmed Lwasa.

Bw’abadde ayogerako eri olukiiko luno, Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ebikolwa ebyokulumisa abantu magalo n’ebyuma okubaggyako ennyama wakati mu kubaggyamu amawulire.

” Abatulugunya abantu baleetebwe mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.

Tusaba abali mu makomera baleetebwe bawozesebwe, okunoonyereza bwe buba tebunnafunika bayimbulwe bawoze nga bava bweru.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga agamba nti kikyamu okutulugunya abantu n’ekigendererwa eky’okubaggyamu amawulire nga kisaana okukoma amangu ddala.

Era Kamalabyonna alung’amizza ku kya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) okuggya Uganda mu makago gw’ensi ezirima n’okutanda emmwanyi ogw’ensi yonna n’agamba nti kino kyali kikyamu kuba kigenda kusuula ebbeeyi y’emmwanyi era n’asaba abalimi okusigala nga balima emmwanyi.

Owoomumbuga Mayiga asinzidde wano  n’asaba abakyala wakati nga bajaguza olunaku lwabwe olw’ensi yonna beekulaakulanye era bafube okubuulirira abaana nga batwaliramu n’abaana aboobulenzi.

Wano abakiise abamu bawagidde ekya Katikkiro Mayiga wabula ne balaga okunyolwa ku babaka ba Palamenti abafuuse bakyesirikidde ku biriwo mu ggwanga ne basaba akabondo k’ababaka abava mu Buganda okubaako kye bakola.

Olukiiko lutadde omulaka ku nsonga y’enkaayana z’ettaka eziri mu ggwanga era wano Minisita ow’emirimu egy’enkizo  era ssentebe w’akakiiko akaateekebwawo okunoonyereza ku nsonga y’ettaka, Owek.  David Mpanga ayanjulidde olukiiko alipoota ku ebyo bye bazudde ku mivuyo gy’ettaka.

Waliwo ne alipoota endala ezanjuddwa ku ntambuza y’emirimu mu Minisitule ez’enjawulo era bano Kamalabyonna Mayiga abasiimye olw’omulimu ogukoleddwa.

Ku nsonga y’emipiira gy’Amasaza, Kamalabyonna Mayiga ayozaayozezza Bannabuddu olw’okuwangula ekikopo ky’amasaza naye n’asaba emipiira gitwalibwe wansi ku magombolola okusobola okukulaakulanya ekitone.

Olukiiko luliko ebiteeso ebiwerako bye luyisizza omuli; okwebazza Ssaabasajja eyasiimye n’alabikako eri Obuganda mu mpaka z’emipiira gy’amasaza, ekiteeso ky’okusaba UDCA okuzza Uganda mu kibiina ky’ensi yonna ekyemmwanyi wamu n’okukubiriza abantu okusigala nga balima emmwanyi, okuvumirira ebikolwa by’okutulugunya abantu n’ensonga endala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.