
Bya Ssemakula John
Kampala
`Poliisi eriko abantu 13 b’ekutte nga bagambibwa okubeera mu kabinja k’abazigu abeefuula aba boodabooda ne banyaga abantu naddala bannansi b’amawanga amalala emisana ttuku.
Wiiki ewedde, kkamera z’oku nguudo zaalaga akatambi ng’abamu ku bakwate bakuba omukungu w’ekitebe kya Ethiopia, Dawit Kasa, ne bamubbako ne ssente eziwerako awamu n’ebintu bye yalina bwe yali e Kololo ku luguudo lwa Prince Charles.
Wadde ono eyali atambulira ku boodabooda yagezaako okusaba aba booda booda abaali okumpi awo okumuyamba naye nabo beegatta ku baali bamukuba era olwamala okumubba ne badduka ne bagenda.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Mmande, Fred Enanga ategeezezza nti ebikwekweto ebyakoleddwa aba Flying Squad baamalirizza bakutte abantu 13 abagambibwa okubeera ab’akabinja kano nga mu bano mulimu n’ababadde bakaduumira.
“Tukutte 13 omuli n’ababadde babakulira Abdulrahman Bakata eyeeyita Pancho ne Gordon Ssegirinya nga bano baakwatiddwa Flying Squad era okuva lwe twabakutte tewannaddamu kubeerawo bubbi bwa kika kino mu Kampala.” Enanga bw’ategeezezza bannamawulire.
Okusinziira ku Enanga bano babadde bakolera ku nguudo okuli Wilson, Wiliam mu kibuga wakati naye n’ebifo ebirala omuli, Kololo, Kawempe, Kireka, Kisenyi, Industrial Area, Kabalagala, Namirembe road awamu ne Jinja nga babalondodde bakozesa kkamera z’oku luguudo.
Enanga agamba nti batandise okunoonyereza ku munnansi wa China eyabadde mu mmotoka mwe babadde bawambidde munnansi wa China omulala.
Boodabooda zigaaniddwa okuddamu okukola
Omwogezi wa poliisi agamba nti baliko boodabooda 7 ezeeyambisibwa mu kukola obubbi buno zigaaniddwa okuddamu okukola.
“Twalabye Ppikipiki ezeeyambisiddwa era zino zigaaniddwa okuddamu okukola. Tukola buli kimu okuzikwata kuba zeeyambisibwa okukola obubbi buno. Tukyanoonya bonna abeenyigiramu.” Enanga bw’agasseeko.
Poliisi asabye abantu okuyambako singa wabaawo omuntu abeera alumbiddwa aba boodabooda bano.









