Bya Ssemakula John
Masaka – Buddu
Abavunaanyizibwa ku bulimi bw’ekirime ky’Emmwanyi mu Buganda nga bakulembeddwamu ekitongole kya Beene ekya BUCADEF, basabye bannabuddu okwettanira ebibiina by’obwegassi basobole okwekulaakulanya n’okutumbula embeera zaabwe.
Bano bino babyogeredde mu kulambula ab’ekibiina kya Masaka Cooperative Union nga bano balimi ba mmwanyi awamu n’okuzitunda okulaba bwe basobola okutumbula okuzirima mu kitundu kino kisobozese abantu okwegobako obwavu.
Omukwanaganya w’ebibiina by’obwegassi mu Buganda, Mulindwa Wamala annyonnyodde nti baasalawo okukyalira ebibiina by’obwegassi ebyenjawulo basobole okubifunako amagezi aganaabayambako okubunyisa n’okunnyikiza obwegassi mu Buganda.
Ono ne banne bawadde abalimi amagezi okulabirira obulungi emmwanyi zino kibasobozese okuzifunamu nga batandikira ddala ku mutendera ogusooka okutuuka mu makungula awamu n’okuzitunda era bafube okuteeka amaaso ku mutindo mu buli kye bakola.
Akulira Masaka Cooperative Union Emmanuel, Ssenyonga ategeezezza nti ng’oggyeeko emmwanyi ze batunda, baatandise okukola kaawa n’ekigendererwa okyokutandika okwagazisa bannayuganda okunywa kaawa nga Uganda kajja kuba ke katale akasookerwako olwo bannakibiina kyabwe boogere okufunamu.
Omu ku bakulu mu Masaka Cooperatives Union, Herbert Kalyesuubula agamba nti ekibiina kino kirina kinene kye kiyambye ku balimi kuba abalimi abeegattira mu kyo emmwanyi eziva mu mmeresezo zaabwe bazigula ku bbeeyi ya wansiko okusinga ku balala.
Ekibiina kya Masaka Cooperative yatandika mu mwaka 1951 wabula n’esasika mu myaka gyekinaana era yaakatandika okudda eggulu kati myaka egigenda mu esatu era nga ku bibiina 240 bye mwalina baakazzaako engulu ebibiina 101.