
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’abavubuka, ebyemizannyo n’okwewummuzaamu mu Bwakabaka, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu yategeezezza nti Beene asiimye okulabikako eri Obuganda ng’ennaku z’omwezi 29 omwezi gwokusatu ku mukolo bannakibiina kya Nkobazambogo gwe bagenda okulanyiza mu maaso g’Empologoma n’okwebaza olw’okutandika ekibiina kino.
Kinajjukirwa nti Kabaka yatandika ekibiina kino ng’ayagala okugatta abavubuka mu masomero n’amatendekero okusobola okunyweza obumu, okumanya ennono n’obuwangwa bwabwe, okuyiga obukulembeze n’ebirala.
Minisita Ssekabembe yalonze olukiiko olugenda okukulemberamu enteekateeka za bannankozambogo abagenda okulanya ewa Ssaabasajja Kabaka 29 omwezi guno mu Lubiri e Mmengo n’asaba abavubuka okuwereza Kabaka waabwe nga tebeebalira olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.
Mu ngeri y’emu abasabye okwewala enjawukana nga baweereza Kabaka ensobi abakulembeze abalala gye bakola.
Ekibiina kya Nkobazambogo kisobodde okuzaala abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu Bwakabaka ssaako ne mu gavumenti eyaawakati ku bano kuliko; Katikkiro Charles Peter Mayiga ne baminisita ba Kabaka ssaako n’abamu kuba ssenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka nga bakulembedwamu ssentebe waabwe, Omuk. Anthony Wamala akulira Buganda Royal Institute.
Mu bakulembeze abalala mulimu akulira oludda oluwabula gavumenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, Owek.Medard Sseggona, Allan Mayanja Ssebunnya n’abalala.
Omu ku bannakibiina kino era omubaka wa Nakaseke Central, Allan Mayanja Ssebunnya yategeezezza nti nga bannankobazambogo bakkiriza nti Ssaabasajja Kabaka gwe mutwe mu Buganda era tewali kintu kyonna kisobola kubaawula ku Kabaka.
Omubaka Mayanja asabye abavubuka obutatwala kwolesebwa kwa Ssaabasajja Kabaka okutandikawo ekibiina kya Nkobazambogo wabula bakyegatteko mulimu ebirungi bingi.
Ate ye akulira ekitongole kya Essuubiryo Zambogo SACCO, Omuk. Benon Kivumbi yeebazizza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’okulengerera ewala kubanga kati abavubuka ba Buganda beetaaya bulungi n’asaba abavubuka okwettanira enteekateeka eno.









