Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Uganda egenda kufiirwa kinene singa egenda mu maaso n’okuva mu mukago omwegattirwa ensi ezirima emmwanyi n’okuzitunda ogwa ‘International Coffee Agreement 2007 (ICA)’ nga yeekwasa ensonga ennafu ezibadde zisobolwa okwogerwako ne zisalirwa amagezi.
Bino Katikkiro Mayiga yabyogedde aggulawo enteekateeka y’Oluwalo ey’omwaka 2022 mu bimuli bya Bulange ku Lwokusatu n’alaga obutali bumativu ku ngeri ensonga eno gye yakwatiddwamu.
“Bw’oba mu mukago gwa ICO kitegeeza nti emmwanyi zo zibeera zikakasiddwa mu nsi zonna gy’ozitwala ku mutindo naye ate bw’ovaayo kitegeeza nti emmwanyi zo gy’ozitwala ojja kumalanga kwewozaako. Oba ng’atunda amazzi g’okunywa nga tolina kabonero ka UNBS wano mu ggwanga. Kisobola okukendeeza ebbeeyi y’emmwanyi. Ffe tugamba tusigale mu International Coffee Organisation,” Owek. Mayiga bw’agambye.
Katikkiro Mayiga yalambuludde nti Uganda efunamu kinene bw’esigala mu mukago guno so nga singa eguvaawo emmwanyi egenda kugwa akatale ng’abantu ababadde bakola ogw’okugitunda bawandulwe ku mirimu ekigenda okuzza obulimi bw’ekirime kino emabega.
Owek. Mayiga yannyonnyodde nti eby’okusitula omutindo tebibeera bya lunaku lumu wabula biwanvu nga bitwala ekiseera ekiwanvu okusobola okuteekateeka nga n’ensimbi aba UCDA z babaliddeko eziwera obukadde 200 ezibadde zisasulwa nga bammemba buli mwaka ntono nnyo okubaako kye zikyusa.
Katikkiro Mayiga yaagambye nti ekitongole kya Uganda Coffee Development Authority baali bateekeddwa okusooka okutegeeza eggwanga ku bizibu bye basanze mu mukago guno so si kumala gaguvaamu ng’eggwanga teritegedde.
Owek. Mayiga yagasseeko nti bawuliziganyiza n’abakulira omukago guno naye Uganda tetwalangayo kwemulugunya kwayo ku ebyo ebiginyigiriza mu mukago guno wadde okutuma omukulembeze okubyogerako nga tebannagufuluma n’abuuza lwaki abakulira UCDA tebaasooka kutegeeza ggwanga ku bizibu biriyo mu kifo ky’okuwa obuwi ensonga 7 nga baguvaamu.
Okusinziira ku Mayiga, amawanga agasigadde mu ndagaano gakola ebitundu 93 ku buli 100 ku mmwanyi ezitundibwa mu nsi yonna ate ebitundu 64 ku buli 100 ku kaawa anywebwa mu nsi yonna nga Uganda ekyetaaga.
Ono yannyonnyodde nti olw’okuba baagala okukyusa embeera y’abantu ba Kabaka baawalirizibwa okutandika enteekateeka y’Emmwanyi Terimba era n’asaba bannakabula okugijjumbira kuba obungi bw’emmwanyi Uganda z’etunda ebweru w’eggwanga zeeyongedde era omwaka oguwedde Uganda yafunye ensimbi ezisoba mu bukadde bwa ddoola 700.
Mayiga alaze nti Uganda bw’eba esigadde mu mukago guno erina okwongerako okubeera n’abalimisa abatuuka ku bantu, ebikozesebwa ebituufu n’akatale bakagobeko eddagala effu, bazuule ebituufu ku kirwadde ekikaza emmwanyi era banoonye akatale mu kifo ky’okunaayiza ebizibu ebiri ebunaayira.
Owek. Mayiga agamba nti wakati nga bannayuganda batandise okufuna akasente mu mmwanyi ate Uganda we yaviridde mu mukago ogutaba abatunzi b’emmwanyi ekya ICO ky’agamba nti kyabulabe eri ekirime ky’emmwanyi mu ggwanga.
Ku nsonga y’Oluwalo olwatongezeddwa, Katikkiro Mayiga yategeezezza nti okusobola okukung’aanya ssente, abakulembeddemu babeera balina okuwuliziganya n’okukolagana obulungi n’abantu kuba Ssaabasajja Kabaka akulembera bantu so si miti era ng’abantu be balina okusoosowazibwa mu nteekateeka eno ne basobola okuyimirizaawo Obwakabaka nga bwe balinda Federo kubanga ekitiibwa kya Buganda bulijjo kiri mu bantu baayo kwekolera.
Owek. Mayiga yategeezezza nti baagala okulaba nti abantu ba Buganda balina emmere ebamala era nga basula bulungi, basomesa abaana, okwejjanjabya n’okwetuusaako ebyetaago ebyenjawulo byonna bisoboka singa omuntu abaako akasente kafuna okuva mu ebyo by’akola kuba Buganda ne bw’efuna Federo atalina kye bakola tebajja kuganyulwa.
International Coffee Orgaisation yabangibwawo mu 1963 n’ekigendererwa ky’okugatta amawanga agalima kiyambeko okukuuma omutindo gwazo, okunoonya n’okukkaanya ku bbeeyi y’emmwanyi mu katale k’ensi yonna ssaako okukkaanya ku nsubulagana n’emisolo egikwata ku mmwanyi.