
Bya Musasi Waffe
Masaka – Buddu
Omusumba w’essaza lye Masaka, Serverus Jjumba awadde ttiimu y’essaza lya Buddu omukisa esobole okuwangula Buweekula mu lumeggana lweb bagendamu ku Lwomukaaga luno okusalawo muwanguzi w’ekikopo ky’omwaka 2021.
Omukisa Omusumba Jjumba yagubawadde ku Lwokubiri bwe yabadde asisinkanye abasambi n’abakungu ba ttiimu eno okubasiibula n’okubawa omukisa ku kitebe ky’essaza lya Ekeleziya e Kitovu mu Buddu.
Omusumba Jjumba abasambi yabakuutidde okunyweza empisa awamu n’obumu bwebaba baagala okuleeta obuwanguzi. Yategeezezza nti wadde tagenda kulabikako mu kisaawe naye amaaso agenda kugakuumira ku ttivvi essaawa yonna okulaba oba Buddu ereeta obuwanguzi.
Ate ye omutendesi wa Buddu, Steven Bogere ategeezezza abawagizi nti balina enkizo ey’amaanyi okutwala ekikopo kino kubanga beetegese bulungi era abazannyi bonna bali mu mbeera nnungi.
“Ntwala omukisa guno okubakakasa nti tugenda kuleetera kikopo kino kuba tukyagala era kitukolera era kitwongerayo mu maaso.” Bogere bwe yategeezezza.
Ye omukungu wa kkiraabu ya bannamasaka eya Ambiance, Sarah Ssebuggwawo agamba nti singa ttiimu eno ewangula empaka zino, bategese ekivvulu ku ttabi lyabwe ery’e Bukesa omuli ne Afrigo Band okubayozaayoza era abakungu ba ttiimu yonna baakuyingirira bwereere era banywe n’ebyokunywa.









