
Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka w’ekibuga ky’e Mityana mu Palamenti, Francis Zaake awakanyizza eby’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku mateeka n’okukwasisa empisa eby’okumunoonyerezaako ku bikolwa by’agambibwa nti byali wabweru wa Palamenti.
Okwogera bino Zaake abadde alabiseeko ne bannamateeka be okuli Eron Kiiza ne Benjamin Katana mu kakiiko akabadde kakubirizibwa omubaka wa Bugweri, Abdu Katuntu, ategeezezza nti ebimwogerwako tebirina makulu era tebireeteddwa mu mutima mulungi.
Kinajjukirwa nti Zaake yayitibwa mu kakiiko kano ku bigambibwa nti yatyoboola ekitiibwa ky’Omumyuka wa Sipiika Anita Among awamu n’okuyisa olugaayu mu Palamenti ne Ssemateeka w’eggwanga.
“Kimanyibwe okuva ku ntandikwa nti mpakanya ebyakakiiko kano okunoonyerezaako ku nsonga ezaali wabweru wa Palamenti. Noolwekyo ndi wano ku lw’ekitiibwa kye mpa akakiiko kano ne Palamenti so si kwewozaako.” Omubaka Zaake bw’annyonnyodde akakiiko.
Zaake agamba nti tekisoboka kufuna bwenkanya mu kakiiko kano kuba amuvunaana yamaze dda okumusalira omusango nga n’abakuumi abaali baamuweebwa bamuggyibwako wadde ng’akyali Kamisona wa Palamenti awatali kumuwa nsonga yonna.
Okusinziira ku Zaake okumunoonyerezaako si kuzuula mazima naye kumuteeka omuguwa mu bulago olwo bamutte ate olumala balage ensi nti yeetuze ensi esobole okubakkiriza. Ono agamba nti omumyuka wa Sipiika Among y’alina okulabikako mu kakiiko kano so si Zaake.
Zaake annyonnyodde nti ye nga’omuntu yamaze dda okusonyiwa Kadaga olw’okumukudaalira awamu n’ebikolwa by’obutali bwenkanya by’agenda okumukolako.
Ekiteeso ky’okuggya Zaake ku kifo kya Kamisona kyaleetebwa omukiise wa Gulu West mu Palamenti, Ojara Martin Mapenduzi wadde ono yalondebwa akakiiko ka NUP okukulira akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu ( Local Government’s Accounts Committee).
Ekiteeso kya Mapenduzi kino kyagala Zaake aggyibwe ku bwakamisona nga beesigama ku tteeka erirambika entambuza ya Palamenti ku tteeka nnamba 110 ( rules of procedure of parliament).
Ekiteeso kino kyasembebwa omubaka wa Amolatar omukyala owa Atim Agnes Apea okuva mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM).
Zaake agamba nti akakiiko kano akakulemberwa Katuntu nti eby’okumunoonyerezaaako byakumala biseera kubanga omusango baagumusingisiza dda.









