• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Aba UNESCO balambudde Amasiro ne batendereza omulimu ogukoleddwa

Gambuuze by Gambuuze
February 24, 2022
in Amawulire
0 0
0
Aba UNESCO balambudde Amasiro ne batendereza omulimu ogukoleddwa
0
SHARES
116
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kasubi – Kyaddondo

Omukungu wa UNESCO avunaanyizibwa ku ttundutundu ly’obuvanjuba bwa Africa, Prof Hubert Gijzen alambudde omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi we gutuuse n’atenderezza ebituukiddwako.

Gijzen  alambuziddwa Minisita w’obuwangwa, Amasiro n’embiri, olulimi awamu n’ebyokwerinda, Owek. David Kyewalabye Male awamu ne ssentebe w’olukiiko oluzzaawo amasiro gano, Owek. Kaddu Kiberu, avunaanyizibwa ku nteekateeka y’okugazimba Johnson Nsubuga awamu n’abalala.

“Azze okulaba omulimu gw’okuzzaawo Muzibwazaalampanga we gutuuse, asanyuse olw’omulimu ogukoleddwa era njagala okutegeeza Obuganda nti guno omwaka tusuubira amawulire ag’essanyu nga gukwasiddwa Ssaabasajja Kabaka.”

Okusinziira ku Kyewalabye, wadde abantu babadde beebuuza amasiro lwe ganaggwa naye n’ategeeza nti kino si kizimbe kya bulijjo oba ensiisira ennene wabula ekifo ekiraga obuwangwa bwaffe n’ennono mu kuzimba n’okutereka ba Ssekabaka.

Ono annyonnyodde nti buli kalombolombo kagobereddwa era ng’ebimu bibaddemu okunoonyereza kuba Buganda tefunangako muliro munene mu byafaayo nga gwokezza n’okusaanyaawo ennyumba eno.

Owek Kyewalabye asinzidde mu nsisinkano eno ategeezezza nti  omulimu gw’okuddaabiriza amasiro okutunkana n’omutindo gw’ensi yonna gutambula bukwakku  era mu kiseera ekituufu gwakugyibwako engalo.

Ye Prof. Hubert Gijzen Regional Director General we UNESCO mu East Africa  asiimye omulimu ogukolebwa Obwakabaka okulaba nga buzzaawo ekifo ekyenkizo era ekyennono ky’agambye nti kyakugatta ettoffaali ddene mu kisaawe ky’ebyobulambuzi mu ggwanga ate n’ensi okutwaliza awamu.

Kinajjukirwa nti Amasiro g’e Kasubi gaakwata omuliro nga March 16, 2010, era Obwakabaka bwatandikirawo enteekateeka z’okugazzaawo ng’okusinziira ku bavunaanyizibwa ku mulimu guno, akadde konna gagenda kukwasibwa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist