
Bya Ssemakula John
Kampala
Bannakyewa mu bibiina ebyenjawulo balabudde aba Minisitule y’ebyobulamu awamu ne Palamenti ku kukaka n’okugema abantu ku kifuba bwe birina okwegenderezebwa kuba birinnyirira eddembe ly’obuntu.
“Tulina okubeera abegendereza nga tetunnakaka bantu kugemebwa ku buwaze. Twetaaga okufuna obukakafu okuva mu bannassaayansi ku bye tufuna mu kugema n’engeri eddagala lino gye likolamu.” Abamu ku bannakyewa bwe bagamba.
Okwogera bino babadde basisinkanye akakiiko ka Palamenti akakola ku by’obulamu ku Lwokubiri nga kagenda mu maaso n’okuwulira ebirowoozo by’abantu ku nnongoosereza ezigenda okukolebwa mu tteeka ly’ebyobulamu (Health Amendment) Bill, 2021).
Omukugu w’ekitongole kya ‘Initiative for Social and Economic Rights (ISER),’ Sumayah Labila asabye nti nga gavumenti tennatandika kugema bantu ku buwaze erina okwekenneenya engeri eddagala erigema abantu gye likolamu kuba abamu bavuddeyo ne balyemulugunyaako.
Ennongoosereza zino ziragira abantu okugemebwa ku buwaze naddala ku ndwadde enkabwe ezisaasaana amangu nga zibaluseewo era oyo yenna ajeema aweebwa ekibonerezo.
Ebbago ligamba nti singa ekirwadde kibalukawo abantu bajja kugemebwanga oba okuddamu okugemebwa era akulira gavumenti mu kitundu ekyo ajja kuyisa ekiragiro eri abantu bonna okugemebwa, okukeberebwa oba okuddamu okugemebwa era singa omuntu anaajeema waakusibwa emyezi 6 oba okutanzibwa obukadde bwa ssiringi 4.
Aba ISER bategeezezza akakiiko kano nti wadde okugema abantu bonna kikolwa ku lwa bulungi bw’abantu naye waliwo ebyetaaga okukolebwa ng’ebbago lino terinnafuuka tteeka.
“Tulina okusooka okukakasa nti eddagala gyeriri mu bungi, liteekwa kubeera lya bwereere ate nga likola bulungi. Ensonga y’obutuufu bw’eddagala erina kubeera ku mwajjo naye ffe tulowooza nti eby’okugema abantu ku buwaze kye kirina okusembayo ng’ebirala byonna biremye.” Allana Kembabazi okuva mu ISER bw’agasseeko.
Ono annyonnyodde nti mu ggwanga lino mubaddemu embeera ng’abantu basasula ssente nnyingi okufuna obujjanjabi ate abalala ne bawambibwa mu malwaliro olw’okulemwa okusasula.
Kinajjukirwa nti eggulo ku Mmande Minisita w’ebyobulamu, Dr Jane Ruth Aceng yawagidde ebbago lino n’ategeeza nti okugema abantu ku buwaze kye kijja okuyamba bannansi okwerinda ebirwadde ebikambwe.









