
Bya Musasi Waffe
Kampala
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA) kifulumizza ebiragiro ebikulu musanvu eri bannanyini bizimbe mu Kampala omuli okubisiiga, okubigobako abatembeeyi abakolera ku bbalaza zaabyo.
Okusobola okulaba nti bino bituukirira, waliwo engassi eziteekeddwawo omuli n’okuggala ebizimbe bino singa binaasangibwa nga bigaanye okugondera ensonga zino.
Ebiragiro bino bifulumiziddwa omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Hudu Hussein leero ku Lwokubiri ku Media Centre mu Kampala.
Okusinziira ku Hudu, bino byonna bigendereddwamu okukyusa endabika y’ekibuga Kampala kituukane ku mutindo gw’ebibuga ebirala mu nsi yonna nga Dubai.
Mu biragiro bino, Amaduuka, Akeedi, bannyini bizimbe n’abavunaanyizibwa ku bizimbe awamu ne bannyini ttaka balina obuvunaanyizibwa okugoba abatembeeyi ababikolerako nga bakolagana ne poliisi awamu ne KCCA.
Hussein agasseeko nti batandise dda okukola ku ky’okuggya abaana abasabiriza ku nguudo era bali mu nteeseganya ku kye balina okukolera ababuulira enjiri ku nguudo kuba abasinga abantu bazze babeemulugunyaako enfunda eziwera.
Mu birala, KCCA eyagala bannyini bizimbe bayambeko okugoba enzikiza ku bizimbe n’enguudo za Kampala nga bateeka amataala ne kkamera z’ekika kya CCTV ku bizimbe byabwe okusobola okunyweza eby’okwerinda.
Hudu agamba nti amataala bano balina okugateeko nga akabonero ak’okuddiza eri ekibuga ku nsimbi obuwanana ze bayoola okuva mu bapangisa ebizimbe bino era n’alabula ne bannyini bizimbe abatafaayo kubiddaabiriza.
Ono alaze ebimu ku bizimbe ebiri mu mbeera embi nga ku bino kuliko; Cham Towers, MTN Towers ne NSSF Towers by’agamba nti byetaagako langi empya bituukane n’omutindo. Mu ngeri yeemu ebizimbe byonna birina okuteekebwako amannya ne nnamba mu bwangu ddala.
Ku nsonga ya Boodabooda, Hudu annyonnyodde nti bali mu kwebuuza okulaba engeri gye basobola okubawa obukooti obuliko ennamba z’ekika kya QR era bawandiisibwe okusinziira ku ssiteegi zaabwe era bano bakutendekebwa era abo bokka abanaatuukiriza ebisaanyizo be bagenda okukkiriza okukolera mu Kampala.
KCCA yaakwongera okusimba omuddo n’emiti mu kibuga wakati mu nteekateeka y’okulaba ng’ekibuga kyongera okufaanana obulungi.









