
Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi egamba nti terina ky’emanyi ku mayitire g’eyali Omubaka wa Kawempe South mu Palamenti, Mubarak Munyagwa Sserunga wakati ng’amawulire gongera okutegeeza nga ono bwe yawambiddwa abantu abatannamanyika.
Ku wiikendi, amawulire gaatandise okutambula nga Munyagwa bwe yawambiddwa abasajja abaabadde batambulira mu mmotoka kika kya ‘Drone’ emanyiddwa ennyo mu kukozesebwa okuwamba abantu.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga agamba nti tebalina mawulire gonna oba alipoota mu butongole eyeekuusa ku kubula kwa Munyagwa.
“Tetulina muntu yenna yavuddeyo kwemulugunya ku bigambibwa nti Munyagwa yawambiddwa wabula naffe tubiraba ku mutimbagano. Amawulire gano tegategeerekeka naffe kye twafunye nti yayimiriziddwa emmotoka ya Drone bwe yabadde agenda ku ttivvi emu.” Enanga bw’annyonnyodde.
Enanga akakasizza nti wadde babiraba ku mutimbagano naye ono tali mu mikono gya kitongole kyonna eky’ebyokwerinda naye batandise okunoonyereza ku kubuzibwawo kwe.
Bino we bijjidde nga Munyagwa munnakibiina kya FDC lukulwe yaakamala okulumba ekibiina kya NUP awamu n’akikulira Robert Kyagulanyi Ssentamu gw’agamba nti wadde alumiriza Pulezidenti Museveni okubeera nnakyemalira naye asiiba ateekayo ebifaananyi ku mutimbagano nga anyumirwa ne famire ye.
Munyagwa era yalaga nga bannakibiina kya NUP bwe bamala obudde mu kukola embaga n’okwesanyusa kyokka nga bawuddiisa bannayuganda nga bwe bali mu kuggyako Pulezidenti Museveni gwe bagamba nti nnakyemalira.
Wano akulira oludda oluvuganya era amyuka Pulezidenti wa NUP mu Buganda, Mathias Mpuuga yaddiza Munyagwa omuliro n’ategeeza nti ekimuluma kwe kuba nti baamutwalako ekifo nga takyalina mulimu.
Kinajjukirwa nti Munyagwa eyali omubaka wa Kawempe South yawambibwako nga wabula emyezi 2 okulonda akalulu ka 2011 era abamu baali balowooza nti ono attiddwa.
Wabula oluvannyuma yazuulibwa era abamu baamulumiriza nga bwe yali yeewambye, abalonzi bamukwatirwe ekisa era yamala n’akawangula.
Mu kalulu akaasembyeyo aka 2021, Munyagwa akalulu kaamukubye era ekifo kye ne kitwalibwa owa NUP, Bashir Mbaziira Kazibwe.









