
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ensonga z’ebweru ewakanyizza ebiyinting’ana nga Gen. Salim Saleh bw’ategeka okukyalako ewa Pulezidenti Paul Kagame e Kigali mu Rwanda okwogera okuteesaganya ku nkolagana y’amawanga gombi ekintu gavumenti ky’egamba nti si kituufu.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero ku Lwokuna nga February 17, 2022, abakungu mu Minisitule eno bategeezezza nti bannansi balina okwekengera amawulire gano agatambuzibwa kuba gasobola okuleetera enteeseganya eziriwo wakati w’amawanga gombi okutambula akasoobo.
“Minisitule y’ensonga z’ebweru eyagala okutegeeza abantu nti amawulire agatambuzibwa ku mitimbagano ku nsonga eyo waggulu si matuufu. Uganda ne Rwanda bagezaako okuzzaawo enkolagana naye ate bakimanyi nti waliwo abantu abaagala okugotaanya enteekateeka eno.” Ekiwandiiko okuva mu minisitule bw’ekisomye.
Okusinziira ku Minisitule eno, obugenyi buno tebuliiyo era abatambuza amawulire gano balina ebyabwe bye beenoonyeza.
Kino kyaddiridde omu ku bannamawulire okutegeeza nga Gen. Saleh bw’asuubirwa okukyalako e Rwanda okulaba nti enkolagana y’amawanga gombi eyongera okulongooka. Oluvannyuma ono yategeezza nti eggulire lino lyabaddemu ensobi era n’aliwanulayo ku mutimbagano.









