
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ekikula ky’abantu n’enkulaakulana yaabwe, etegeezezza ng’omuwendo gw’abasajja abeemulugunya ku bakyala baabwe ababadduseeko ne bagenda okukuba ekyeyo mu mawanga g’Abawarabu bwe gweyongedde.
Okusinziira ku Ministule eno, okwemulugunya kuno okusinga kuva mu basajja abawangaalira mu byalo era nga bagamba nti tebalina kye bamanyi abakyala baabwe gye bali, ekintu ekireeseewo okwekyawa mu baami bano nga weetaaga okubaawo ekikolebwa.
Minisitule egamba nti abakyala bava mu maka gaabwe ng’abaami tebategedde ne bagenda okwenogera ku nsimbi mu kyondo kya Buwarabu.
“Mu kitongole kyaffe ekirwanyisa okukusa abantu mu minisitule y’ekikula ky’abantu ekya ‘ National Centre for Coordination and Prevention of Trafficking in Persons,’ twongedde okufuna okwemulugunya okuva mu basajja ku bakyala baabwe okubabulako ne bagenda ku kyeyo.” Amyuka akulira ekitongole kino Agnes Igoye bw’ategeezezza.
Ebiri mu Minisitule eno biraga nti omuwendo gw’abavubuka abawala abagenda ku kyeyo gweyongedde nnyo okusinga ku gw’abalenzi.
Wabula Igoye agamba nti wadde abasajja beemulugunya kyokka bwe bagenze mu maaso n’okukebera ekituufu oba bano babadde bakyala baabwe, kizuuse nti tebaabawasa mu mateeka nga bwe baba bagamba.
Ono asabye abakyala okwesonyiwa okudduka ku basajja n’ategeeza nti singa wabaawo obutakkaanya ekisinga kutuula na kwogerezeganya okusinga okugumaza embiro.
Minisitule eraze nti ekimu ku bintu ebisinze okuvaako abakyala okuddukira ku kyeyo bwe bufumbo n’omukwano gwe babaddemu okusasika.
Ku nsonga z’omuwala Judith Nakintu eyaggyibwamu ensigo bwe yali akola mu kiyumba mu Saudi Arabia, Igoye agamba nti Ssaabawaabi wa gavumenti yamaze dda okuggula emisango ku bannannyini kkampuni ya Nile Treasure Gates Company abaatwala omuwala ono okukola era mu bwangu baakusimbibwa mu maaso g’omulamuzi.
Abavunaanibwa kuliko; Kato Abubaker, Muhammad Mariam, Ali Hassan ne Salma Muhammad.
Kigambibwa nti Nakintu yatwalibwa kkampuni ya Nile Treasure mu 2019 okukola e Saudi Arabia ng’omukozi wa waka naye mu 2021 bakama be baamutwala mu ddwaliro okumugema COVID-19 naye n’amaliriza ng’ensigo bazitutte.









