
Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina ekigatta badokita mu ggwanga ekya ‘Uganda Medical Association(UMA), kisabye gavumenti ekikkirize okulambula obuduukulu obugambibwa okutulugunyizibwamu abantu okusobola okuwa abalwadde bano obujjanjabi obw’enjawulo eri abo abagambibwa okutulugunyizibwa.
Bino babyogedde ku wiikendi nga abasawo bano beegasse ku nsi yonna okuvumirira ab’ebyokwerinda
Akulira ekibiina kino ekya UMA, Dr. Samuel Oledo agamba nti okutulugunya abantu bano tekikoma kubateekako biwundu naye bafune ekikyamu ku mutwe ekintu ekitabula eby’obulamu bwabwe era kisobola n’okuvaamu okutabuka omutwe.
“Okutulugunyizibwa abantu mu buduukulu wakati wa 2012 ne 2016, akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission (UHRC) baafuna okwemulugunya okusoba mu 1000 nga balumiriza okutulugunyizibwa nga bali mu buduukulu bwa poliisi.
Eggwanga bwe lyali mu muggalo gwa COVID-19 akakiiko kano kafuna okwemugulunya kwa bantu 238. (203 basajja ate 35 bakazi ) ku misango gino 150 okwemulugunya kwali ku poliisi 150 ate 83 gyali ku UPDF ate emisango 5 gyali ku kitongole ky’amakomera.
Oledo asabye abasawo okuvumirira ebikolwa bino, babiwandiikee era babiroope mu b’obuyinza singa bakizuula nti omulwadde gwe bakolako yatulugunyizibwa mu mbeera yonna.
“Tuli beetegefu okuyambako abo abatulugunyizibwa era tuli beetegefu n’okuyamba okujjanjaba abo abakyali mu buduukulu nga beetaaga obujjanjabi obwenjawulo nga tubatwalo mu bifo we basobola okubufunira obulungi.” Odole bwe yagasseeko.









