Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Minisita w’abavubuka emizannyo n’okwewummuzaamu mu Bwakakaba, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu asabye abavubuka okwettanira ebyemikono nga muno lwe bajja okuyita okusobola okwekulaakulanya n’okukyusa obulamu bwabwe.
Owek. Ssekabembe okwogera bino abadde ttendekero lya Buganda Royal Institute gy’abadde agenze okulambula abamu ku bavubuka ba Buganda abaasindikibwayo okubangulwa mu by’emikono eby’enjawulo okulaba we batuuse mu nteekateeka eno.
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe ebyemikono lye kkubo lyokka erisobola okumalawo ebbula ly’emirimu eryeyongera buli kadde n’asaba abavubuka okubaako omulimu gw’omutwe gwe bayiga kuba kiba kyangu okwetandikirawo emirimu.
Ono afalaasidde abavubuka abafunye omukisa guno obutagulagajaalira kuba gusobola bulungi okukyusa obulamu bwabwe nga bateeka mu nkola ebyo bye bayize.
Akulira ebyensoma ku ttendekero lino, Kaggwa Apollo ategeezezza nti obukodyo obuweereddwa abavubuka bano butuukana bulungi n’embeera y’ensi ekyukakyuka ng’omukisa guno gugenda kubanguyiza obulamu.
Omu ku babangula abavubuka bano, Joseph Balikuddembe agamba abavubuka bano mu kiseera kino basobola okutandika okwenogera ensimbi olwobukugu bwe bafunye.