
Bya Ssemakula John
Kampala
Omulangira Kiweewa Crispin Jjunju akubirizza abantu ba Kabaka okwongera okunyweza obumu era bettanire enteekateeka z’Obwakabaka okusobola okukyusa embeera zaabwe wamu n’okuzza Buganda ku ntikko.
Bino Omulangira Jjunju abyogeredde mu Lubiri bw’abadde aggulawo omwaka gw’Amakula ogwa 2022 mu Lubiri e Mmengo ku Lwokuna okuva mu ggombolola okuva e Kyaddondo ne Kyaggwe.
Mu ngeri yeemu akubirizza abazadde okufaayo okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu baana kibasobozese okumanya obuvo bwabwe n’okubwagala babiyigirize n’abalala.

Abakiise embuga kubaddeko eggombolola mutuba 4 Kawuga okuva e Kyaggwe, eggombolola ya Musaale Busukuma okuva e kyaddondo kw’ossa n’Omuweereza wa Ssaabasajja mu kitongole kye ekya Buganda Land Board ng’akulembeddemu Dennis Bugaya.
Abaami ba Kabaka abamulamulirako eggombolola zino era banjudde alipoota omuli abibasoomooza ne bye basobodde okutuukako era ne beeyama okusigala nga beenyigira mu buli nteekateeka z’Obwakabaka kubanga buno buvunaanyizibwa bwabwe.
Enteekateeka ya Amakula ebeerayo buli wiiki era Amakula agaleeteddwa kubaddeko; emmere ebisolo, ebibala n’ebintu ebirala.









