
Bya Francis Ndugwa
Kyaddondo
Kataktikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga aboggoledde abantu abenjawulo abavaayo okuwa Obwakabaka amagezi ku ngeri gye bulina okutambuzaamu emirimu gyabwe kyokka nga tebeenyigira mu nteekateeka ezo ezizza Buganda ku ntikko nti bano balabe ba Buganda nnamba emu.
Katikkiro okwogera bw’ati abadde ku Lutikko e Namirembe ku mbaga Rawland Ssaaka Mulindwa ng’agattibwa ne mwana munne Evelyn Nagadya.
“Ntera okusanga abantu abambuulira biki ffe abakulembeze b’Obwakabaka bye tusaana okukola, oli akugamba nti muzimbe amalwaliro, omulala mutandike amakolero, omulala abavubuka mwogere okubakwatako babe bayiiya era beezimbe, omu yajja n’abing’amba kwe kumubuuza ku bino ggwe okozeeko ki, n’akolola,” Mayiga bw’annyonnyodde.
Owek. Mayiga agamba nti abantu engeri eno tebasobola kumuwa magezi ngeri bw’alina okuddukanyaamu Obwakabaka kyokka ng’enteekateeka z’Obwakabaka ozeewala.
Owek. Mayiga agamba nti oluusi bano basalawo nokunenya naye n’asiima omugole Mulindwa olw’okubeera omujjumbize ku nsonga za Buganda awatali kwagala bantu kumanya era enteekateeka ez’enjawulo azeetabyemu mu nkola ya ‘Mwoyo gwa Buganda ogutafa.’

Owek. Mayiga ategeezezza nti ensangi zino abantu bye basinga okukulembeza bye bizibu okuva mu kubuulirirwa awamu n’emitimbagano ky’agambye nti kirina okukoma kuba abavubuka abagenda mu bufumbo babeera bamanyi ekituufu ne kye baagala nga tebeetaaga kuzza mu bizibu.
Mayiga agamba nti buli muntu yeetaaga okubaako ky’akola so si kubeera mu bigambo okusobola okuzza Buganda ku ntikko kuba buvunaanyizibwa bwa buli muntu okutegeera ensonga Ssemasonga ettaano awamu n’okuzirwanirira.
Omukolo gw’okugatta abagole bano gukulembeddwamu omulabirizi w’e Mityana Kitaffe mu Katonda Ssaalongo James Bukomeko akuutidde abagole okukulembeza Katonda mu bufumbo bwabwe beewale okweraguza ebintu bisobole okubanguyira.
Omukolo guno gwetabiddwako abagenyi ab’enjawulo omuli; Katikkiro eyawummula Eng.J .B Walusimbi, Minisita w’abavubuka emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek.Henry Ssekabembe Kiberu, bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka okubadde okulira Nkuluze, Omukungu Ronald Kitenda n’akulira Buganda Land Board, Omukungu Simon Kaboggoza n’abantu abalala.









