• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Gen Otafiire: “Pulezidenti bwe bamulondera mu Palamenti olwo ekyatulwanya tekibeeramu makulu”

Gambuuze by Gambuuze
February 7, 2022
in Amawulire
0 0
0
Gen Otafiire: “Pulezidenti bwe bamulondera mu Palamenti olwo ekyatulwanya tekibeeramu makulu”
0
SHARES
56
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Kampala

Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Maj Gen Kahinda Otafiire agamba nti Palamenti singa kagitanda n’ekola enkyukyuka mu Ssemateeka, Pulezidenti n’atandika okulondebwa  ababaka; olwo emyaka etaano gye bamala nga balwana mu nsiko okuggyako gavumenti eyaliko, olutalo olwo luba teruliimu makulu wadde akatono.

Bino Otafiire yabyogedde ku wiikendi bwe yabadde awaayo pulojekiti ez’enjawulo ezakoleddwa eggye lya UPDF nga lijaguza emyaka 41 egy’olunaku lwa Tarehe Sita egyakwatiddwa e Mbale.

Otafiire agamba nti buno bubeera bufere bwennyini kuba NRM ekyagitwala mu nsiko kwali kulwanirira demokulaasiya n’okuwa bannayuganda eddembe lyabwe okwerondera omukulembeze gwe baagala nga bayita mu kalulu.

“Olwo olutalo teruba na makulu kuba ezimu ku zino ensonga zennyini ze zatutwala mu nsiko.” Minisita Otafiire bwe yagambye.

Ono era alabudde ebitongole by’ebyokwerinda okuli amagye ne poliisi okukomya okutulugunya abantu n’okubakuba kuba si nte era n’asaba kino kikome mu bwangu kuba kisiikuula bannansi emitima n’okunafuya gavumenti ya NRM.

Okusinziira ku Otafiire, poliisi n’amagye biringa bya nnyanja ebyetaaga amazzi okubeerawo era nga mu nsonga eno bannayuganda ge mazzi agalina okubibeezaawo.

Otafiire yagguddewo ekizimbe kya bibiina bisatu ku ssomero lya Manjiya Primary School,  ekirala kya bibiina bibiri ku Umayoka Primary School  awamu n’ekizimbe okuli kaabuyonjo n’ebinaabiro ebigenda okukozesebwa abakyala abasulirira okuzaala ku Bukigai Health Centre III.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist