• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bobi Wine:  Kakwenza yang’amba mbu Muhoozi yamusaba aleme kulaga biwundu  amuwe omulimu mu gavumenti

Gambuuze by Gambuuze
February 7, 2022
in Amawulire
0 0
0
Bobi Wine:  Kakwenza yang’amba mbu Muhoozi yamusaba aleme kulaga biwundu  amuwe omulimu mu gavumenti
0
SHARES
59
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Omuwandiisi w’ebitabo, Kakwenza Rukirabashaija agambibwa okuba nti yategeeza Pulezidenti w’ekibina kya  National Unity Platforms (NUP), Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) nga mutabani wa Pulezidenti Museveni, Muhoozi Kainerugaba bwe yamusaba obutalaga biwundu na nkovu ze yafunira mu kkomera n’amusuubiza okumuwa omulimu.

Kyagulanyi bw’abadde ayogerako ku mboozi gye yalina ne Kakwenza bwe yali amukyalidde oluvannyuma lw’okuyimbulwa bwe yamusanga mu makaage e Magere oluvannyuma lw’okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti.

Kakwenza yakwatibwa mu Desemba 28 n’aggalirwa okumala omwezi mulamba ku bigambibwa  nti yavuma Muhoozi Kainerugaba ng’ayitira ku mutimbagano.

Obubaka bw’atadde ku mukutu gwe ogwa Twitter, Kyagulanyi annyonnyodde ebyatuuka ku Kakwenza nga omubiri gwe gwonna gujjudde ebiwundu kyokka nga kino kye kimu ku bimanyise ebitono ku ebyo ebyamukolebwa.

“Okusinziira ku bigambo bye,  Muhoozi yeenyini mu kumutulugunya, era ebisinga byamukolebwako mu kifo kya Muhoozi e Ntebe. Emirundi ebiri Muhoozi yamusisinkana n’amusaba okulekerawo okuvuma gavumenti oba si kyo ekinaamutuukako anaakiraba.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.

Kyagulanyi agamba nti Muhoozi talina nsonyi yagenda mu maaso n’asaba Kakwenza aleme kulaga nsi byamutuukako ng’ali mu busibe.

“Yamusaba obutalaga biwundu bye yafuna ng’atulugunyizibwa n’amusuubiza okumuwa omulimu era alekere awo okuwandiika. Kyagulanyi agamba nti Muhoozi alowooza nga Museveni nti buli kimu kiriko omuwendo. Ensi ebikolwa bino terina kubikkiriza kugenda mu maaso.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.

Bobi Wine yeebazizza Kakwenza olw’obutakkiriza kutiisibwatiisibwa . Wabula kaweefube waffe okwogerako ne Gen Muhoozi ku nsonga eno agudde butaka.

Wadde Ssaabawaabi wa gavumenti, Jane Frances yategeeza kkooti wiiki ewedde nti Kakwenza teyatulugunyizibwa ng’ali mu kkomera nga bw’agamba wabula ebiwundu bino Kakwenza alabika yabifuna akyali mwana muto nga yatulugunyizibwa.

Kinajjukirwa nti Pulezidenti Museveni azze avumirira eky’abeebyokwerinda okutulugunya abantu nga baagala okubaggyamu obujulizi ky’agamba nti kikyamu.

Amerika wiiki ewedde yavumirira eky’okutuluganya bannansi n’esaba ebikolwa bino bikomezebwe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist