• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Balabudde abaagala okwezza ebifo by’Ennono

Gambuuze by Gambuuze
February 3, 2022
in Amawulire
0 0
0
Balabudde abaagala okwezza ebifo by’Ennono
0
SHARES
76
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Paul Kato

Kalungu – Buddu

Abakulembeze b’eggombolola ya Ssabasajja Mituba 2 Bululula balabudde abantu abakaayanira  ettaka ewali Olubiri lwa Ssekabaka Ttonda ekimanyiddwa nga Nkulungu nga kisangibwa Ggogye -Namwanzi e Bukulula mu Buddu kuba kino kityoboola ennono n’obuwangwa bwa Buganda.

Okulabula kuno kukoledde omumyuka Omwami w’eggombolola Ssaabasajja Mituba II e Bukulula,  Nsubuga Patrick bw’abadde mu lukiiko olw’okumalawo obugulumbo obuli ku kifo kino.

Nsubuga Patrick ategeezezza ng’ebintu ebikolebwa mu bifo ebyennono bwe birina okugobererwa kyokka n’alabula okwegendereza abantu abajja ng’abayambi kuba munda babeera balina ebyabwe bye beenoonyeza kyokka n’awera nti tebajja kufiirwa kifo kino nti era baakukinunula.

Bo abatuuze bano nga bakulembeddwamu Omutongole wa Kabaka, Kasekende George William balumirizza Lutaaya Kimbowa Wassajja okubagobaganya mu kifo kino n’akizimbako bbugwe w’amataffaali era n’amenya ennyumba abatuuze gye babadde bakung’aaniramu mu kifo kino ng’agamba nti ettaka lino lyonna lirye.

Abatuuze baloopedde omumyuka w’omwami w’eggombolola nga bwe basanze okusoomoozebwa olw’ebikolwa bya Wassajja nga okuva lwe yawamba ekifo kino yagaana omuntu yenna okukirinnyamu ekigere.

Amyuka Sipiika w’olukiiko lwa disitulikiti y’e Kalungu, Nsubuga Muzafaru akukkulumidde abanene mu gavumenti eyaawakati olw’okulemera mu bifo by’ennono kyokka nga bakimanyi bulungi nti ebifo bino byonna gavumenti eyaawakati yabiddiza Obwakabaka.

Wabula Lutaaya Kimbowa Wassajja agambibwa okugobaganya abantu mu kifo kino wadde mu lukiiko tabaddemu naye agamba nti yasindikibwa abatwala essaza Buddu okutereeza ekifo kino kuba kyali mu mbeera mbi ng’abamu ku batuuze bakikoleramu ebitasaana.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist