
Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi mu ggwanga erabudde Dr. Kizza Besigye okwewala okukuma mu bantu omuliro n’okubakunga okwekalakaasa kuba bajja kumukolako ng’amateeka bwe galagira.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire leero ku Mmande, Fred Enanga ategeezezza nti bafunye amawulire okuva mu bitongole byabwe ebikessi nga galaga nti okusobola okusannyalaza eggwanga, Besigye asazeewo okuzuukusa akabiina ka Power 10 ke yatondawo mu 2016 okunoonyeza aba FDC akalulu.
“Tulina amawulire agalaga nti Dr. Besigye ne bannabyabufuzi abalala baagala kuzuukusa Power 10 okusobola okwekalakaasa mu kibuga. Baamaze dda okuwandiisa abantu bataano ku buli kyalo naye Besigye tumumanyi ng’omuntu w’okwekalakaasa era tumulabula obutamenya mateeka kuba etteeka lya ‘ Public Order Management Act’ likyaliwo era bw’aba yeekalakaasa alina kusooka kusaba lukusa.” Enanga bw’agambye.
Enanga annyonnyodde nti ekiseera Besigye mw’ayagalira okwekalakaasa kizibu kuba emirimu gy’abantu gyakaddamu okutambula oluvannyuma lw’okukosebwa Ssennyiga Corona ng’abasinga beetaaga emirembe gyabwe.
Bino we bijjidde nga Dr. Besigye yaakategeeza bannamawulire mu Kampala nti okwekalakaasa kujja kubeerawo si nsonga wali mulamu oba nedda kuba embeera etabuse.
“Okwekalakaasa kugenda kubeerayo omwaka guno tewali kubuusabuusa siraba ngeri gye tusobola kukwewala. Ensonga gye tugenda okutambulizaako omulundi guno byanfuna kuba bituuse ewazibu era kino kirina okukyuka.” Besigye bw’aweze.









