
Bya Musasi Waffe
Kampala
Ekitebe ky’Amerika mu ggwanga lya Kenya kirabudde ku bikolwa by’obutujju munda mu ggwanga eryo.
“Ekitebe ky’Amerika kirabula abantu okubeera obulindaala mu bifo by’olukale nga Ssemaduuka, wooteeri, ebisaawe by’ennyonyi, Kiraabu, ebirabo by’omwenge, amasomero, amasinzizo awamu n’ebifo ebisinga okubeeramu abalambuzi. Emikolo gy’amasanyu awamu n’ebikung’aanya abantu ng’okwekalakaasa kuba gino basobola ogikozesa okukola obutujju,” Ekiwandiiko okuva ku kitebe ky’Amerika bwe kisomye.
Ku Mmande Enanga ategeezezza nti bannayuganda bonna balina okusigala obulindaala kuba obutujju bukyaliwo oluvannyuma lw’abatujju okulumba Poliisi ya CPS nga Novemba 16 ne Parliamentary Avenue mu Kampala omwafiira abantu abawerako.
“ Twagala okutegeeza bannayuganda nti obutujju bukyaliwo mu ggwanga. Eby’okulumba abantu ku Kulisimansi e Congo biraga nti abatujju basobola bulungi okutegeka ennumba zaabwe nga bakolagana ne bannaabwe abawangaalira munda mu ggwanga.” Enanga bw’annyonnyodde.
Enanga agamba nti wadde ab’ebyokwerinda bali bulindaala oluvannyuma lw’Amerika okulabula bannansi ba Kenya ne wano abantu balina okukola ogwabwe okwekengera n’okuloopa omuntu yenna gwe batategeera.
Bino we bijjidde ng’eggye ly’eggwanga erya UPDF lyakwataganye n’erya Congo okufufuggaza abayeekera ba ADF abasangibwa mu bibira by’e Congo.
Ab’obuyinza mu ggwanga balumiriza aba ADF okubeera emabega w’obutujju obwakolebwa mu Kampala omwaka oguwedde nga kino kye kyawaliriza eggye okwesogga Congo okubalwanyisa era oluvannyuma lw’okusaanyaawo enfo zaabwe ezisinga kigambibwa nti, abayeekera bano badduse ekibabu ne beeyongerayo.









