
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’ekitongole ekirondoola n’okulung’amya ebyempuliziganya ekya Uganda Communications Commission wamu ne Minisitule y’amawulire ne Tekinologiya mu Gavumenti eyaawakati.
Bw’abadde atongoza omukago guno ku mbuga enkulu e Bulange- Mmengo, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti tekinologiya n’emikutu gimukwanirawala gisobola bulungi okwongera okuganyula abantu naye ekizibu ekiriwo kwe kuba nti gikozesebwa bubi.
“Ekimu ku bisoomoozo bye tulina mu ggwanga y’enkozesa ya tekinologiya esiga obukyayi mu bantu, naye ate mu kusoomooza okwo ate we wali omukisa ogwamaanyi, Ffe nga Obwakabaka twagala kuba basaale nga tuyita mu bitongole byaffe ebyamawulire tukole enteekateeka ey’okubangula abantu nti essimu yo si yakuvuma muntu wabula osobola okugikozesa okufunamu ensimbi.” Owek. Waggwa bw’annyonnyodde.
Ku lw’Obwakabaka, Ssenkulu wa Buganda Investment and Commercial Undertakings Ltd, Omuk. Roland Ssebuufu yataddeko omukono ate Ssenkulu wa UCC, Muky. Irene Ssewankambo n’assaako ate nga Minisita omubeezi owa Tekinologiya n’Amawulire, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo n’omuteesiteesi omukulu mu Minisitule eno, Aminah Zawedde babaddewo okujulira endagaano.
Bano basabye Buganda okuyambako Gavumenti okuzza obuntubulamu mu bantu kuba kino kigenda kusuula eggwanga mu bizibu.
Okusinziira ku ndagaano eno, Obwakabaka bugenda kukolera wamu ne Minisitule ya Tekinologiya okwongera okutuusa empeereza ya Tekinologiya n’ebyempuliziganya ku bantu.
Ebigenda okukolebwa bisimbye essira okutumbula embeera z’abantu n’okwongera ku nkulaakulana ng’enjuuyi zombi ziyita mu tekinologiya n’emikutu emitongole egy’Obwakabaka okuli; BBS Terefayina, CBS Radio ne Gambuuze online.
Okusinziira ku bakulu mu Minisitule y’amawulire ne Tekinologiya enteekateeka eno egenda kuyambako okusomesa abantu okukozesa obulungi emitimbagano era bamanye nti essimu za Sseereza ze bakwata zirina okusobozi okubawa emirimu n’okugatta ku nnyingiza yaabwe.
Ssenkulu w’ekitongole kya UCC, Irene Ssewankambo agambye nti enteeseganya z’okuggulawo Facebook zigenda mu maaso wabula enkolagana n’Obwakabaka era egenderedde okubaako emikutu n’abakugu abalala b’ereeta ku mwanjo Uganda ebeere n’ebyayo.
Bassenkulu b’ebitongole ebigenda okuwoma omutwe mu kutuukiriza enteekateeka eno babaddewo okuli BBS Terefayina ekulirwa Omuk. Eng. Patrick Ssembajjo ne CBS FM ekulirwa Omuk. Micheal Kawooya Mwebe baweze okukola ekisoboka okutuukiriza ebigendererwa by’omukago guno.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu baminisita okuli ow’ebyenjigiriza n’ebyobulamu, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Ssaabawolereza wa Buganda, Owek Christopher Bwanika ne Minisita w’amawulire, Owek. Noah Kiyimba awamu n’abalala.









