Bya
Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya National Unity Platform kitabukidde gavumenti olw’okugoba abatembeeyi ku nguudo z’ekibuga Kampala awatali kusooka kubafunira we bagenda kudda.
Bino we bijjidde ng’ekitongole kya Kampala Capital City Authority kyatandika okusengula abatembeeyi oluvannyuma lw’okumala ekiseera nga babalabula.
Pulezidenti w’ekibiina kino, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti eggwanga limaze emyaka ebiri ng’ebyenfuna biggaddwa nga tekikola makulu mu kaseera kano okugoba abatembeeyi mu kaseera kano n’alaga nti kyandibadde kyamakulu okubalindamu.
“ Kino si kye kiseera ekituufu okugoba abatembeeyi ku nguudo. Bamaze emyaka ebiri nga bali waka tebakola naye ate we babadde bafunidde essuubi okuddamu okukola ku ssente ate ne mubagoba nga temufunye waakubateeka.” Kyagulanyi bwe yagambye.
Ate Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, David Lewis Rubongoya, ategeezezza nti baagala gavumenti ekuume emirimu gy’abantu bano ng’ebalaga we bagenda okukolera.
NUP era ezzeemu n’esaba bannakibiina kyabwe abaakwatibwa ku misango gy’ebyobufuzi bayimbulwe.
“Gavumenti eyimbule abasibe abakwatibwa olw’ebyobufuzi oba ebatwale mu kkooti. Bano basoba mu 100 naye buli lunaku abantu batutuukirira nga bagamba nti abantu baabwe tebalabikako, baawambibwa mu mmotoka za ‘Drone’ naye tebalabikangako mu kkooti.” Rubongoya bwe yagasseeko.
Bannakibiina kya NUP, bagamba nti abenganda okuli bannyinaabwe, abaana n’eikwano gyabwe gimaze omwaka mulamba nga tebalabikako kyokka ne mu kkooti tebaliiyo.









