
Bya Francis Ndugwa
Bulange -Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza ennambika empya egenda okugobererwa ebibiina by’obwegassi ku musingi gw’Obwakabaka. Omukolo guno gubadde ku mbuga enkulu eya Buganda e Bulange- Mmengo
“Mu nteekateeka y’Obwakabaka Nnamutaayika mwe tutambulira 2018 -2023, ensonga y’obwegassi erambikiddwa bulungi era ebbanga lyonna tukola okulaba nti tutuukiriza ekiragiro kya Nnyinimu ku nsonga eno.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Buganda yafunamu nnyo olw’ebibiina by’ obwegassi ebyaliwo mu budde obwo, omuli amayumba amalungi mu byalo, okuweerera abaana wadde baali balimi naye baalina enkizo ku nsonga omuntu omu gy’atasobola.

Owek. Mayiga agamba nti ebibiina by’obwegassi bitandise okubukala mu ggwanga era n’asiima aba CBS olw’okubeera abasaale mu kuzuukusa omutima gw’obwegassi mu Buganda ne Uganda.
“Ebittavvu oba SACCO biri ku mulamwa gwa bwegassi. CBS kino yakimanya emyaka 14 emabega n’etandika ebittavvu ng’eyita mu nteekateeka ya PEWOSA era abantu bayize obuyiiya, banyiikidde, bafissizza , baterekedde wamu awamu n’okunoonya obutale bw’ebyo bye bakola.” Owek. Mayiga bw’alambuludde.
Katikkiro Mayiga agamba nti ekisinga okuwa essuubi kwe kuba nti abakazi be basinze okwettanira ebibiina byabwe ate nga n’ebyafaayo biraga nti ensi tesobola kukula singa abakyala baba tebalinako kye bayingiza mu nsawo.

Ono era asiimye ebittavvu by’ebibiina bya Buganda ebirala omuli Ssuubiryo Zambogo SACCO, era ne yeebaza abo bonna abakola enteekateeka ezaavaamu ebibiina bino ebituukana n’ekiragiro ky’Omutanda.
Akunze Abaganda okutambula ng’enkuyege era buli kimu bakikolere wamu ku lwa Nnamuswa era buli kimu kikolebwe ng’obwanga bwolekedde Nnamuswa Ssaabasajja, kiyambe okuzza Buganda ku ntikko.
Owek. Mayiga agambye nti ennambika eno egenda kuyamba ebibiina by’obwegassi byonna okutambulirira awamu kuba bonna bakolerera bulungi bwa Buganda era n’asaba abakulembera ebibiina bino okugoberera ennambika eno wonna mu Buganda.
Ennambika eno yaakusobozesa Obuganda bwonna okutambulira awamu ate ku misinde eminene.
Ate Minisita omubeezi ow’ebyobulimi nga y’avunaanyizibwako ebibiina bino butereevu, Hajji Amisi Kakomo ategeezezza nti bingi ebituukiddwako mu kusitula embeera z’abantu ba Buganda.
Okusinziira ku Minisita Kakomo, ebibiina bino bizimbye obumu mu bantu ba Kabaka nga biyita mu kubayigiriza okutereka, okusiga n’okutondawo emirimu ekiyambye okulwanyisa obwavu nga basiga ensimbi n’okuwola bannaabwe awamu n’okubasomesa ebikwata ku ssente.
Owek. Kakomo annyonnyodde nti ennambika eno egenda kwogera amaanyi mu bikolebwa era abantu ba Buganda baakwongera okuganyulwamu.
Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Namwama Augustine Mutumba, Minisita Henry Ssekabembe, Minisita Noah Kiyimba, Ssaabawolereza Christopher Bwanika awamu n’abakulira ebitongole eby’enjawulo.









