• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita Otafiire avumiridde omujaasi eyakubye owa tulafiki amasasi, waakuvunaanibwa

Gambuuze by Gambuuze
January 20, 2022
in Amawulire
0 0
0
Minisita Otafiire avumiridde omujaasi eyakubye owa tulafiki amasasi, waakuvunaanibwa
0
SHARES
80
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga, Maj. Gen (Rtd) Kahinda Otafiire avumiridde ekikolwa ky’omujaasi wa UPDF  eyakubye omupoliisi wa Tulakifi essasi mu kugulu olw’okugezaako okusika emmotoka ye eyabadde ekoze akabenje ku Ssande ya wiiki ewedde.

Omupoliisi wa Tulafiki eyategeerekese nga Robert Mukebezi agamba nti oluvannyuma lw’emmotoka y’ekika kya Toyota Prado TX nnamba H4DF 1391 okwenyigira mu kabenje yagezezzaako okuyita emmotoka Kasiringi egitwale ku poliisi wabula ekyaddiridde kwabadde kukubwa ssasi mu kugulu.

Minisita Otafiire bw’abadde ayogera ku nsonga eno ategeezezza nti omujaasi eyakoze ekikolwa kino ne bw’aneekweka ludda wa bajja kumufuna era avunaanibwe n’alabula abo bonna abalina empisa ensiiwuufu nti tebalina kyanya mu ggye ly’eggwanga.

“Sigenda kwetonda ku lwa mujaasi amala gakuba bantu bw’atyo, tetuyinza kukkiriza bikolwa bwebiti mu magye gaffe,” Minisita Otafiire bw’agambye.

Minisita Otafiire agamba nti tewali nsonga yonna erina kwekwasibwa okukozesa obubi emmundu era ng’omu ku bannansiko ba National Resistance Army (NRA), era nga baalwana tebaagala ku bikolwa byonna bya ngeri eno.

Bino we bijjidde ng’ebitongole by’obwannakyewa ebiwerako awamu n’abakulu mu poliisi bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa ekikolwa kino era ne basaba amagye okukwata musajja waago ono wasobole okubaawo obwenkanya.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yategeeza bannamwulire ku Mmande nti ekikolwa kino kya bukambwe era ekitalaga bukugu ku mujaasi ono eyakikoze.

Okunoonyereza okwakakolebwa ku nsonga eno kulaga nti anoonyezebwa akola n’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftancy of Military Intelligence(CMI).

Omukutu guno Gambuuze Online gwakitegeddeko nti omupoliisi ono Mukebezi eggulo yakutuddwako okugulu kwe okusobola okutaasa obulamu kuba yavaamu omusaayi nga mungi ekyateeka obulamu bwe mu matigga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist