• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ag'Ebweru

Gambia : Pulezidenti Barrow alayiziddwa  bw’awangudde omusango

Gambuuze by Gambuuze
January 20, 2022
in Ag'Ebweru
0 0
0
Gambia : Pulezidenti Barrow alayiziddwa  bw’awangudde omusango
0
SHARES
60
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Pulezidentu Adama Barrow alayiziddwa ku bukulembeze bw’eggwanga lya Gambia oluvannyuma lw’okuwangula omusango gw’ebyokulonda ogwali gumuloopeddwa mu kkooti ensukkulumu ey’eggwanga eryo.

Barrow kati atandise ekisanja kye ekyokubiri nga Pulezidenti w’eggwanga lino nga byonna abifunye ayita mu kalulu era obutambi busaasaanidde omutimbagano nga bulaga omukulu ono ng’akuba ebirayiro okunyweza Ssemateeka n’okukulembera obulungi abantu be.

Kino kiddiridde kkooti ensukkulumu okugoba omusango ogwatwalibwayo ekibiina ekivuganya ekya  United Democratic Party (UDP) nga bawakanya ebyava mu kalulu akaakubwa nga Desemba 4 akalaga nti Barrow yawangula n’ebitundu 53 ku buli 100.

Aba  UDP  kino baakiwakanya nga bagamba nti vvulugu eyalabikira mu kulonda kuno yali y’aludde okulabikako nga tekali kaamazima na bwenkanya nga Ssemateeka bw’agamba.

Ku Mmande  ya wiiki eno, kkooti ensukkulumu  yagoba omusango ng’egamba nti obujulizi obwali buleeteddwa bwali bunafu.

Kinajjukirwa nti Barrow nga tannayingira byabufuzi yalina bbizinensi z’ebyettaka era yaliko ng’omukuumi owa Securiko mu kibuga London ekya Bungereza wabula yeewuunyisa ensi bwe yeesimbawo mu 2017 n’awangula Pulezidenti eyaliko Yahya Jammeh mu kalulu ak’ebyafaayo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist