
Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti erangiridde nga bw’egenda okwezza emirimu gyonna egikwatana ku materekero g’amafuta agali mu kibuga Jinja okusobola okutaasa eggwanga mu kaseera k’aatyabaga.
Alangiridde kino ye muteesiteesi omukulu mu minisitule y’ebyamasannyalaze n’obugagga obw’omu ttaka, Eng. Irene Pauline Batebe leero ku Lwokusatu bw’abadde awayaamu ne bannamawulire ku kizibu ky’ebbula ly’amasannyalaze ekiriwo.
Okusinziira ku Batebe, amatekero gano agasangibwa ku Mutiibwa Road mu disitulikiti y’e Jinja galina obusobozi okuterekamu liita z’amafuta obukadde 30 agasobola okuwanirira eggwanga okumala ssabbiiti bbiri nnamba singa wabaawo ebbula ly’amafuta mu ggwanga.
Wakati ng’eggwanga lituuyana n’ebbula ly’amafuta, bino bibadde bikalu ekiraze obwetaavu eri gavumenti okuddamu okutereka amafuta mu ttanka zino kuba kkampuni ya ‘One Petroleum Limited’ eyali yaweebwa omulimu guno gulabika nga gugiremeredde.
“ Kkampuni y’eggwanga eya Uganda National Oil Company (UNOC) ekoze entegeka ez’okuddamu okutereka amafuta mu ttanka zino awamu n’okuzirabirira era okusooka baakwetaaga obukadde bwa ddoola 12 okulabirira obukadde bwa liita 12 ez’amafuta.” Batebe bw’annyonnyodde.
Kinajjukirwa nti mu Desemba w’omwaka oguwedde ng’amafuta gatandiikiriza okubula, abakulira kkampuni ya UNOC baategeeza ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyensimbi mu Palamenti nga ttanka zino bwe zitaliimu wadde ettondo ly’amafuta, kati kwe kusalawo okweddiza omulimu guno kitaase eggwanga ku bbula ly’amafuta.









