Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti eweze abatembeeyi abatambula mu byalo ne babalagira bakome mu ttawuni ng’ekiragiro kino kitandikiddewo okukola.
Ekiragiro kino kiweereddwa Minisita w’ebyokwerinda mu ggwanga, Jim Muhwezi ng’alagidde ababaka ba Pulezidenti mu bitundu eby’enjawulo, n’abakulira ebyokwerinda ku disitulikiti (DISO) awamu n’abamagombolola okulaba nti ekiragiro kino tekimenyebwa.
Okusinziira ku Minisita Muhwezi abatembeeyi ab’engeri zonna baweereddwa okutaayaayiza mu byalo kuba mwerimbikamu abamenyi b’amateeka.
“Tufunye amawulire agakakasa nti waliwo abamenyi b’amateeka abatambula mu byalo naddala mu bitundu bya Ankole nga beekwese mu batembeeyi.” Muhwezi bw’annyonnyodde.
Abatembeeya ebintu ebyabuli ngeri tebalina kukkirizibwa kuba bafuuse ensibuko y’obutabanguko n’asaba abo abaagala okusigala mu mulimu guno okukoma mu bubuga ne ttawuni.