
Bya Francis Ndugwa
Kampala – Kibuli
Jjajja w’obuyisiraamu mu ggwanga, Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu akyazizza omubaka wa Libya mu ggwanga Moustapha Qidara, ne beegeyaamu ku nsonga ez’enjawulo omubadde okunyweza enkolagana wakati w’amawanga gombi.
Ensisinkano eno ebadde mu maka g’Omulangira e Kibuli era bino we bijjidde nga Ambasada Qidara akyusiddwa okuva mu Uganda n’atwalibwa ewalala.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire Omulangira Nakibinge ategeezezza nti amawanga gombi galina enkolagana ey’enjawulo ebaddewo okumala akaseera era kiyambye okutumbula enkolagana.
“Ekimuleese kwe kwongera okunyweza omukwano n’enkolagana eriwo wakati waffe era ffenna tukimanyi bulungi nti eggwanga lya Libya lirina bingi bye likoze ng’amakolero agawadde bannayuganda emirimu.” Omulangira Nakibinge bw’agambye.

Omulangira agamba nti afunye obukakafu okuva ewa Ambasada Qidara nti obutabanguko obubadde mu Libya bukenderedde ddala era ebintu bitambula bulungi.
Okusinziira ku Mulangira, wadde Libya egenda mu kalulu naye omukwano wakati w’amawanga gano gombi tegugenda kukyuka kuba essira liri ku bannansi okusinga omuntu obuntu.
Ye Ambasada Moustapha Qidara abadde ayogera mu luwalabu nga luvunuddwa Shk. Ebraheem Ssali, yeeyamye nti Libya yakugenda mu maaso n’okuyamba abaana ba Uganda omuli okwongera okubawa ssikaala okusomera e Libya.
Qidara agamba nti omukwano gwa Uganda ne Libya gwa nsonga, baakukola kyonna okugukuuma akaseera konna.









