• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyenjigiriza

Bakutte Heedimasita n’abalala ku muliro ogwasse abayizi e Kawempe

Gambuuze by Gambuuze
January 17, 2022
in Ebyenjigiriza
0 0
0
Bakutte Heedimasita n’abalala ku muliro ogwasse abayizi e Kawempe
0
SHARES
44
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Poliisi ekutte abantu bana okuli Heedimasita, omwami akuuma abayizi abalenzi (Warden), omusomesa eyali ku mulimu awamu ne Metulooni, bannyonnyole ku ngeri omuliro gye gwakwata ekisulo ky’abayizi e Kawempe ne gutta abamu ate abalala ne batwalibwa nga biwalattaka.

Ku makya ga Ssande, abayizi bana ab’essomero lya New Crest -Kibedi Day and Boarding Primary School baafa ekiziyiro ate abalala abawerako ne batwalibwa nga bali bubi oluvannyuma lw’ekisulo ky’abayizi abawala okukwata omuliro ku ssaawa nga 9:30 ez’ekiro.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza bannamawulire nti okunoonyereza kwe baakakolawo kulaze nti waaliwo obulagajjavu ku batwala essomero lino era kye kiyinza okuba nga kyavaako omuliro okusaasaana.

“Ekisulo kyalimu abaana 53 ate nga kitono kuba obutanda obwalimu bwali busulako abayizi basatu basatu. Waaliwo amakubo matono nnyo eri abayizi bano okuyitamu nga waliwo akabenje. Ensawo n’engoye byonna byali bisuuliddwa ku ttaka ate tewali byuma bizikiza muliro wadde obudde obulabula ng’omuliro gubaluseewo.” Enanga bw’agambye.

Poliisi by’ezudde biraga nti mu kisulo kino mwalimu akasenge akalala Metulooni mwe yali asula awamu n’abaana abalala era kirowoozebwa nti eno omuliro gye gwatandikira era olw’okuba kaali katono kye kyavaako abayizi okufa ekiziyiro.

Wabula Enanga agamba nti omuliro nga gutandise Metulooni na Asikaali baagezaako nnyo okufulumya abamu ku bayizi abali babuliddwa we bayita.

Abakwate kuliko; Heedimasita Twaha Sseruwu, Omusomesa eyali akola ekiro ekyo, Ahmed Ssengooba, akuuma abaana abalenzi Hamid Kabibi.

Ate omutandisi w’essomero lino, Hajji Abdu Kibedi awamu n’akulira eby’okulambula amasomero bayitiddwa okubaako bye bannyonnyola ku muliro guno.

Enanga asabye abakulira amasomero okutegeeza poliisi singa wabaawo okwekengera kwonna kwe bafunye.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist