
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ebyobulamu eyimirizza okukebera ekirwadde kya Corona ku nsalo e Malaba ne Busia kisobozese akalippagano k’ebimotoka ebitambuza ebyamaguzi n’amafuta okukendeera.
Dr. Charles Olaro eyatadde omukono ku kiwandiiko ku lw’akulira ebyobulamu mu ggwanga agamba nti akalippagano kano kasobola okuvaako ekirwadde okweyongera era kwe kusalawo bagira bayimirizaamu.
“Minisitule esazeewo okuyimirizaamu okukebera abantu bano kisobozese ebimotoka okutambula nga biyingira mu ggwanga era twewale n’embeera eyinza okuvaako ekirwadde kino okweyongera olw’omugotteko gw’abantu.” Ebbaluwa bw’esomye.
Okusinziira ku Minisitule eno, ekiragiro kino kya kaseera era bajja kuddamu bakyekenneenye bwe banaaba batudde mu lukung’aana lwa baminisita ba East Africa, ssabbiiti eno okulaba ekiddako.
Kinajjukirwa nti Uganda yali yaddamu okukebera okw’obuwaze eri abantu bonna abayingira mu ggwanga okuli ne baddereeva b’ebimotoka ebitambuza ebyamaguzi mu Desemba wa 2021 era Minisitule yategeeza nti kino kyali kikolebwa okutaasa eggwanga ku kawuka akeeyubula aka Omicron.
Wabula kino kyavaamu ennyiriri z’ebimotoka bino okweyongera nga zigendera ddala okutuuka mu Amagoro ekya Kenya era embeera bw’eti bw’ebadde okuva January 1.
Ekibiina ekitaba bannabyantambula mu Kenya ekya ‘Kenya Transporters Association (KTA)’ kyavaayo ne kirabula nga bwe bagenda okwediima okuyingiza kuno ebyamaguzi byabwe singa gavumenti ya Uganda tetereeza mbeera eno.









