
Bya Francis Ndugwa
Masaka – Buddu
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti obuwangwa n’eddiini bikulu nnyo mu kunyweza obuntubulamu era bisobola okuleetawo enkulaakulana mu Buganda ne Uganda.
“Bwe buteeka essira ku buwangwa n’enzikiriza ng’omusingi gw’amaka, kijja kuyamba obukulembeze obw’enjawulo obw’ennono n’eddiini okwongera okunyweza obuntubulamu ekinaaleeta enkulaakulana.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Bino Owek. Mayiga abyogedde aggalawo omusomo ogusookedde ddala wakati w’Abataka abakulu ab’obusolya (ebika) mu Buganda n’abakulembeze b’eddiini wansi w’olukiiko olubagatta olwa Inter-Religious Council of Uganda.
Omusomo guno gwategekeddwa Nnaabagereka Development Foundation oguyindidde mu disitulikiti y’e Masaka wansi w’omulamwa ‘Engeri Obuwangwa n’Eddiini gye biyinza okubeera eng’ango y’okusibusa obuntubulamu mu maka.’

Owek. Mayiga agamba nti eddiini n’Obuwangwa birina ettoffaali ddene lye bigatta ku nkuza y’abaana mu maka ne kiyamba okunnyikiza obuntubulamu awamu n’okusumulula enkulaakulana eri Buganda ne Uganda yonna.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, okuzza Buganda ku ntikko kitandikira ku muntu ssekinnoomu wamu n’amaka mwe bava. Bw’atyo asabye abantu bulijjo okusooka okufaayo ku maka gaabwe.
Ono akakasizza nti awatali buntubulamu kibeera kizibu okudda ku ntikko. Asabye eddiini n’obuwangwa byeyambisibwe okubeera entabiro y’obuntubulamu.
Mayiga era asabye abakulembeze okweyambisa tekinologiya n’omutimbagano okubaako bye bayiga era babisomese n’abo be bakulembera, ebika byabwe bisobole okukulaakulana.
Ono alaze okutya olw’abantu abavudde ku miramwa egitwala eggwanga mu maaso nga kino kyeyolekera mu nkuza y’abaana awamu n’engeri gye beeyambisaamu ebintu ebireeteddwa enkulaakulana.
Katikkiro Mayiga asabye abantu okwewala enjawukana z’eddiini naye abantu babasembeze nga beesigama ku busobozi abantu bwe balina nga bajjajjaffe bwe baakolanga mu kulya obwami.

Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Omutaka Augustine Kizito Mutumba, ategeezezza nti singa eddiini, obuwangwa n’ennono bitambulira awamu, abantu ababigoberera tebagenda kusigala mu masang’anzira era ensi ejja kukulaakulana.
Omwami wa Kabaka mu ssaza ly’e Buddu, Ppookino Jude Muleke agambye nti wadde edda obuwangwa bwali bumanyiddwa mu kusamira naye ate obuwangwa busingako wano era abantu mwe basinziira okutegeera n’okusembeza ebyo ebibeera bibasukkulumyeko ng’amaka y’entabiro ya buli kimu.
Abeetabye mu musomo guno baliko ebiteeso 8 bye bayisizza okukwasiza awamu okusobola okubangawo enkolagana ey’omuggundu okuli; okumalawo embeera ey’okuttattana ennono n’ebyobuwangwa mu ngeri y’ekifamukokko, okunyweza empuliziganya, enjuuyi zombi okussa amaanyi mu kunoonyereza okusobola okufuna okumanya n’ebirala.
Omusomo guno gwetabiddwako Omusumba w’essaza ly’e Masaka Sereverus Jjumba, Ven. BK Buwembo, ng’ababanguzi kubaddeko Bishop Joshua Lwere akulira abalokole, nga n’Obusiraamu bukiikiridwa okuva mu biwayi ebibiri.









