Bya Francis Ndugwa
Kampala – Kyaddondo
Nnaabagereka Sylvia Nagginda alaze okutya olw’empisa ezongedde okusiwuuka mu baana ezitadde ebiseera bye ggwanga mu katyabaga nasaba abantu bonna okusitukiramu okutaasa embeera ku lw’ebiseera by’ eggwanga eby’omu maaso.
Okwogera bino asinzidde mu kuggulawo omusomo gw’ Abataka n’abakulu mu nzikiriza ez’enjawulo wansi w’omulamwa, ‘Engeri obuwangwa n’eddiini gyebiyinza okuyamba okuzza obuntubulamu mu maka,” oguyindidde ku Maria Flo e Masaka.
“Ndi musanyufu okulaba nti abakulembeze ab’ennono tukwataganye ne bannaddiini ku nsonga y’obuntubulamu. Njagala okubajjukiza nti abaana batwala empisa ezibeera zibasigiddwamu mu maka. Noolwekyo mu nsonga zammwe mwesibe nnyo ku maka.” Nnaabagereka Nagginda bw’annyonnyodde.
Maama Nagginda agamba nti abazadde kumpi wonna mu ggwanga obudde bwabwe babumalidde mukunoonya ssente ekirese abaana nga tebaliiko ayamba ekivuddeko ebikolwa eby’ekko mu baana okweyongera.
Okusinziira ku Nnaabagereka empisa zisiwuuse nnyo mu baana ekivuddeko embuto ezitaneetuuka, Mukenenya, okuwanduka mu masomero nga byonna agamba ekizibu kiva ku maka.
Nnaabagereka akinogaanyiza nti olw’obuntubulamu okubula mu bantu kivuddeko obuli bw’enguzi, ekibbattaka, obucaafu n’ebirala okweyongera mu ggwanga nga walina okubaawo ekikolebwa.
Ate Ssenkulu w’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation, Omuk. Adrian Mukiibi agamba nti eddiini n’obuwangwa byonna biteeka essira ku buntubulamu era nga basuubira nti omusomo guno gujja kugattako kinene ku kukyusa embeera z’abantu.
Mu nsisinkano eno, Omukubiriza w’olukiiko lw’ Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba annyonyodde nti ekizibu ekyaliwo kwekuba nti enzikiriza ezaaleetebwa wano zaali za njawulo nezikyayisa abantu obuwangwa nga babagamba nti bya Sitaani ekyavaako olukonko wakati w’eddiini n’Obuwangwa.
Maama Nagginda abazadde abasabye okuteekamu amaanyi ge gamu ku mwana omulenzi nga bwekiri ku muwala okusobola okuteekawo amaka amalungi n’ eggwanga eriteredde.
Ye Omusumba Joshua Lwere kulwa banaddiini banne alaze obukulu bw,ebika okutambulira awamu n’obuwangwa kyagambye nti kyakuyambako okusitula embeera z,abantu.
Omusomo guno gwakumala enaku 4 nga essira lyakutambulira kukukubaganya ebirowoozo ku enkolagana wakati w’obuwangwa ne ddiini, Ebyenfuna byabantu, enzikiriza mu ddiini n’obuwangwa wamu n’obulyake.
Omusomo guno gwetabiddwako ne Colonel Edith Nakalema nga gwetabiddwamu bannaddiini abeegattira mu kibiina kya Inter-Religious Council of Uganda (IRCU) era nga Katikkiro Charles Peter Mayiga yasuubirwa okuguggalawo ky’olwokutano.
Kinajjukirwa nti Nnaabagereka Sylvia Nagginda yatandikawo ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation okutereeza embeera y’abantu ba Ssaabasajja ng’ayita mu kunyweza ennyingo z’obuntubulamu omuli; ensonyi, empisa, amazima, obwerufu, obuvunaanyizibwa awamu n’endala.