Bya Musasi Waffe
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru wa Buganda, Owek. Joseph Kawuki asabye abantu abawangaalira mu masaza g’emitala w’amayanja okwettanira okusomesa abaana obuwangwa bwabwe n’ennono, kibayambe okugitegeera n’okugyagazisa abalala.

Owek. Kawuki okwogera bino abadde asisinkanye abaami ba Kabaka abamulamulirako amasaza g’emitala w’amayanja agasinga enkizo ku malala mu nteekateeka ya Luwalo lwaffe mwe baasondera obukadde obwasoba mu 64 omwaka oguwedde, ng’ensisinkano eno ebadde ku ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo.
Owek. Kawuki agamba nti olw’okuba abantu balina obwesige mu Buganda, Oluwalo lujjumbiddwa mu Uganda n’ebunaayira era alina essuubi nti enteekateeka ez’enjawulo ezigendereddwamu okutuusa empeereza ku bantu ba Kabaka.

Okusinziira ku Minisita Kawuki, Omutanda asiimye ku mulundi guno Obuganda okukuza olunaku lwa ‘Buganda kwe Kwaffe’ ng’eno y’ekung’aanya abantu ba Kabaka okuva emitala w’amayanja we bafunira omukisa okusanyukira awamu ne Ssaabasajja Kabaka. Minisita Kawuki abasabye okwongera okusakira Obwakabaka n’okukolerera okuzza Buganda ku ntikko okweragira mu bikolwa, ky’agambye nti kyakutwala Obwakabaka mu maaso.
Omwami wa Kabaka atwala essaza lya North California ne Nevada eryanywa mu malala akendo, Owek. Patrick Nalikka Ssendegeya ategeezezza nti balina enteekateka ze bategese okulaba ng’Obwakabaka bwongera okuggumira.

Ate abalala okuli Owek. Leonard Muwonge Mukasa okuva e New York, New Jersey ne Nalubega Tinnah Kasujja akiikiridde Owek. Moses Mayanja akulembera essaza lya North Pacific, baweze okwongera okuweereza Ssaabasajja n’okukumaakuma abantu mu bitundu bye bakulembera okulaba nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’Abaganda.
Bano bakwasiddwa ebirabo ebyenjawulo okubeebaza olw’okwetaba mu nteekateeka eno n’okuweereza Beene awatali kumutiiririra.









