
Bya Musasi Waffe
Gayaza – Kyaddondo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’asaasira aba famire y’akulira essomero lya Gayaza High School, Robina Katongole Kizito n’oOmwami Fred Kizito, olw’okufirwa muwala waabwe Namutebi Joana Wabwire.
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka yabutisse omumyuka wa Katiikiro owookubiiri era omuwanika w’Obwakabaka, Oweekitibwa Robert Waggwa Nsibirwa mu maka gaabwe agasangibwa e Gayaza- Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso.
“Enjega eno eyagwa ku mwami n’Omukyala Kizito, ffenna yatukwatako nnyo ng’abantu era olwaleero ndeese obubaka buno obwantumiddwa Ssaabasajja Kabaka ne Katikkiro okunyumyamu nabo okulaba embeera bw’eri. Nneebaza Mukama nti tusanze bagumu nga banyweredde mu Mukama.” Owek. Waggwa bw’annyonnyodde
Akulira essomero lya Gayaza High School nga ye maama w’omugezi Joana Namutebi Wabwire, Robina Katongole Kizito yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olwokubasulira omwoyo wakati mu kusoomoozebwa kwe balimu.
Amumyuka Omulabirizi w’Obulabirizi bwa Kampala, Rt. Rev Dr. Hannington Mutebi asinzidde wano n’asaba abantu okwegayirira omutonzi kuba eggwanga litubidde mu bizibu eby’enjawulo.
Kinajjukirwa nti Joana Namutebi Wabwire yafa nga yaakagattibwa mu bufumbo obutukuvu ng’ennaku z’omwezi 17 Desemba omwaka oguwedde.









