
Bya Ssemakula John
Mityana – Ssingo
Omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) alayidde nti ku mulundi guno tagenda kukkiriza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kuddamu kukwata ku Ssemateeka ng’ayagala Palamenti y’eba etandika okulonda Pulezidenti.
Ekirayiro kino Kyagulanyi akikoledde ku kyalo Bombo e Mityana mu Ssingo mu kuziika Mutyaba Yusuf eyafudde ku Lwokubiri lwa wiiki eno.
Mutyaba yabadde Jjajja w’omumyuka wa Ssaabawandiisi wa Nup akola ku kunoonyereza era Sipiika wa disitulikiti y’e Wakiso, Najja Sherif.
Kino kiddiridde ebigambo okuyiting’ana nga gavumenti bw’eyagala okukyusa Ssemateeka, Pulezidenti w’eggwanga atandike okulondebwanga Palamenti mu kifo kya bannansi nga bayita mu kalulu akaawamu nga bwe gwali ku 2021.
Wabula bino omumyuka wa Ssaabawolereza wa gavumenti, Jackson Kafuuzi bino yabyegaanye ng’agamba nti si bituufu.
Bobi Wine agamba ku luno abataddeko abiri kuba buli mulundi Ssemateeka bwe yeekika mu kkubo lya Pulezidenti Museveni ng’amukyusa okusobola okuyitawo.
“Kati agezaako okumukyusa ababaka babeere nga be balonda Pulezidenti. Ffenna tukimanyi nti kino akikola okusobola okukakaatika ku bannayuganda omukulembeze yenna gw’ayagala singa abeera avudde mu buyinza. Naye musaasidde kuba tugenda kukirwanyisa.” Kyagulanyi bw’agambye.
Kyagulanyi yabuulidde bannamityana mu lwattu nti Pulezidenti Museveni akalulu kaamukuba ebitagambika mu Buganda era n’atandika okulangira abaganda okubeera abasosoze.
Ku kino Bobi Wine agamba singa abaganda basosola teyandisobodde kulwanira mu kitundu kyabwe awamu na kumuwagira mu lutalo lwa 1980 olwali e Luweero.









