
Bya Ssemakula John
Lubaga
Eklezia Katolika etegeezezza nga Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala omuggya, Paul Ssemogerere bw’ajja okutuuzibwa mu ntebe eno mu mwezi guno nga 25.
Kino kirangiriddwa Ccansala w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Rev. Fr. Pius Male Ssetumbwe ku Lwokuna mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza ku Lutikko e Lubaga.
Okusinziira ku Fr. Ssetumbwe, Ssaabasumba agenda kutuuzibwa omubaka wa Ppaapa mu Uganda, Luigi Bianco nga gwakubeera ku Lutikko e Lubaga.
Kino kyaddiridde Ppaapa Francis okulangirira okulondebwa kwa Ssemogerere okubeera Ssaabasumba w’essaza lino ng’adda mu bigere bya Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafa gyebuvuddeko.
Oluvannyuma lw’okufa kwa Ssaabasumba Lwanga, Bisoopu Ssemogerere yalondebwa okubeera omukuumi w’entebe ya Ssaabasumba w’essaza lino okutuusa lwe yalondeddwa okubeera Ssaabasumba omuggya.









