
Bya Ssemakula John
Kampala
Amyuka Ssaabawolereza wa gavumenti, Jackson Kafuuzi awakanyizza ebigambibwa nti gavumenti etegese okwebuuza ku bantu mu ggwanga lyonna okusobola okukyusa Ssemateeka okusobola okukkiriza Palamenti okulondanga Pulezidenti mu kifo ky’akalulu ka bonna.
Kino kiddiridde ensonda ezeesigika mu maka g’Obwapulezidenti okutegeeza nga gavumenti bw’erina enteekateeka y’okukyusa ennonda y’omukulembeze, Kafuuzi ky’agamba nti si kituufu.
“Ndabye obubaka ku mitimbagano egy’enjawulo nga bulaga nti gavumenti eyagala kukyusa Ssemateeka nga bayita mu kwebuuza ku bantu. Bano bagamba nze nabyogedde naye yenna abitambuza alina ebigendererwa bye.” Kafuuzi bw’agambye ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter.
Ye Minisita w’ebyobulimi, Frank Tumwebaze agamba nti si nsonga oba bituufu kuba temuli bulabe mu kukyusa Ssemateeka nga bayita mu kwebuuza ku bantu kuba ebbanga lyonna abantu babadde babanja ennongoosereza mu Ssemateeka.
Bino bisiikudde akulira ekibiina kya National Unity Platform(NUP), Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine; alabudde bannayuganda okwegendereza kino kuba bwebiti bwe bisooka era bwe gwali kukuggyawo ekkomo ku myaka awamu n’okuggyawo ebisanja.
“Museveni yawangulwa bubi nnyo mu kalulu akawedde kati ayagala kuggyako bannayuganda eddembe lyabwe okwerondera Pulezidenti. Era kino ategese okukikola atusibeko mutabani we kuba akimanyi nti tasobola kuwangula kalulu.” Kyagulanyi bw’ategeezezza.
Bobi Wine yeebazizza bannayuganda olw’okuteeka gavumenti ku nninga mu myaka esatu egiyise kuba baanise Pulezidenti Museveni ku bikolobero by’abakoze.
“Tulina okukomya okwogera tutandike okukola. Buli omu ku ffe alina omugabo ogw’ekyenkanyi mu ggwanga lino era temulinda ffe kubagamba kya kukola.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.
Waliwo amawanga ag’enjawulo mu ggwanga agalina enkola eno eya Palamenti okulonda Pulezidenti mu kifo ky’abantu nga bwe guli e Uganda.
Mu gano kuliko; Canada, Bungereza, Italy, Japan, Latvia, Netherlands, New Zealand n’amalala.
Uganda yalina enkola eno naye yakoma mu 1980, Museveni bwe yagenda mu nsiko ng’awakanya ebyali bivudde mu kalulu k’agamba nti kabbibwa Milton Obote.
Okusinziira ku mateeka mu Uganda, omuntu okufuuka Pulezidenti alina okuwangula akalulu ka bonna n’ebitundu ebisoba mu 50 ku buli 100. Kati ekirindiriddwa kwe kulaba oba ennongoosereza ezoogerwako zinaakolebwa.









