
Bya Ssemakula John
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Joseph Kawuki asabye abakulembeze okwongera amaanyi mu kubangula abavubuka abanaabaddira mu bigere nga bavuddewo era kiyambe eggwanga okugenda mu maaso.
Okusaba kuno Owek. Kawuki akukoledde ku kabaga k’amazaalibwa g’eyali omuweereza w’Obwakabaka Danstan Sserunyiigo Kasolo bw’abadde ajaguza okuweza emyaka 90 egy’obukulu .
Owek. Kawuki asinzidde wano n’asaba abakulembeze okulaba nga bayigiriza abavubuka ebyafaayo kibayambe okubikenkuka nabo basobole okubiyigiriza abaliddawo.

Ono era asinzidde wano n’alabula abantu abagenda nga basekeeterera Obwakabaka nga beefuula ababuwagira so nga beenoonyeza byabwe.
Minisita Kawuki era asiimye emirimu Danstan gy’akoledde Obuganda kuba y’omu ku bantu abatono abasobola okwebuuzibwako ku byafaayo bya Buganda.
Ye Dunstan Kasolo yeebazizza Obwakabaka olw’okumuteekamu obwesigwa era n’asaba bwongere okuteekawo amatendekero agasobola okusomesa ebyafaayo.
Abamu ku b’enganda za Danstan okuli oweekitiibwa Mariam Mayanja Nkalubo, basiimye abantu olw’omukwano gwe balaze omukulu Danstan Kasolo ebbanga lyonna.

Omukolo guno gwatandise na kusaba nga kwakuliddwamu eyali Omulabirizi wa Central Buganda, George Ssenabulya era ono yakuutidde abantu okwefumiitiriza ssaako n’okutambulira mu makubo amalambulukufu.









