
Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekiramuzi kiwakanyizza ebitambuzibwa nga Pulezidenti Yoweri Museveni bw’akkiriganyizza ne Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo okuggyawo okweyimirirwa ku misango eminene.
Kino kiddiridde ebitambuzibwa ku mutimbagano okulaga nga Ssaabalamuzi bweyakkirizza okuwagira ekya Pulezidenti Museveni okugaana abantu abavunaanibwa emisango eminene omuli okulya mu nsi olukwe, obutemu n’emirala.
Mu buufu buno eyavuganyaako ku bwapulezidenti, Dr. Kizza Besigye yategeezezza nti Ssaabalamuzi yeddizza obuvunaanyizibwa bw’okuggyawo okweyimirirwa.
“Yawadde ebiragiro okulambika kkooti ku kweyimirirwa mu ngeri evvoola Ssemateeka era baamaze dda okutaputa amateeka naye ekirungi okuwakanya ensonga eno mu kkooti ekomerekkezebwa mu mikono gye.” Besigye bwe yagambye.
Wabula mu kiwandiiko omukutu guno kye gulabyeko, ekitongole ekiramuzi kitegeezezza nti ebitambuzibwa ku mitimbagano si bituufu.
“Twagala okutegeeza eggwanga nti tewali kyatuukiddwako ku nsonga eno. Ebiyiting’ana ku mutimbagano bikyamu era temubigenderako.” Omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Jameson Karemani, bw’ategeezezza.
Karemani agamba nti wadde kituufu waliwo enteekateeka ku kweyimirirwa mu kkooti zonna naye eno yatandika dda nga ne Pulezidenti tannavaayo ku nsonga ya kweyimirirwa.
Ono agasseeko nti enteekateeka eno ekyatambula era omutendera oguddako kwebuuza ku bantu abakwatibwako ku nsonga eno.
“ Ennyingo 133 (1) (b) eya Ssemateeka w’eggwanga awa Ssaabalamuzi obuyinza okuwa ebiragiro ebirambika kkooti we kibeera kyetaagisizza okusobola okuzitambuza obulungi n’okuteekawo obwenkanya.” Karemani bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Karemani enteekateeka ze bakola mu kweyimirirwa za kulaba ng’okweyimirirwa na byonna ebikugenderako bituukana bulungi ne Ssemateeka w’eggwanga okusobola okunyweza eddembe ly’abantu ababeera bavunaanibwa, ababavunaana awamu n’eddembe ly’abo abakosebwa ng’omusango tegunnatandika.
Ono akakasizza nti mu bye bakola temuli kyakuggyawo kweyimirirwa nga bwe bibadde byogerwa.
Kinajjukirwa nti bwe baali mu musomo gw’okujjukirwa eyali Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka, Pulezidenti Museveni ne Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo baalemwa okukwatagana ku nsonga y’okuggyawo okweyimirirwa ku bantu abavunaanibwa emisango eminene.
Owiny-Dollo yategeeza nti okweyimirirwa ddembe eribaweebwa Ssemateeka era okukugaana oba okukkirizibwa kirina kusalibwawo kkooti yokka wabula kino Museveni yakiwakanya ng’agamba nti wabaawo obutali bwenkanya ku ludda olumu singa ateeberezebwa okuzza omusango akkirizibwa okulya obutaaala.









