Bannange mbalamusizza mwenna. Twebaza Katonda atukuumye okutuusa leero wakati mu kusoomoozebwa ; COVID-19, Obwavu n’ebirala. Tusaasira bonna abafiiriddwa n’abalwazizza abantu baabwe. Byonna byetuyitamu mbasaba tuleme kuggwamu ssuubi.
Nga tuyingira omwaka 2022 mbasaba mwenna abavubuka mu Bwakabaka mu ngeri ey’enjawulo tulowooze ku nsonga zino wammanga era tuzisalire amagezi ;
- EBY’ENJIGIRIZA
COVID 19 atukozesezza nnyo era abaana n’abavubuka bangi baweddemu essuubi, bakuze mu myaka, bawagguuse, abalala bali mu mirimu egivaamu ensimbi era tebalaba nsonga lwaki balina okuddayo mu masomero. Mbasaba ng’amasomero gaguddwawo abaana n’abavubuka tubakubirize baddeyo mu masomero. Tewali kyemweyuna bweru. N’abasookayo nga bafunye n’ebbaluwa z’obuyigirize bakulungudde emyaka nga tebannafuna mirimu . Buganda okudda ku Ntikko, obuyigirize nsonga nkulu nnyo.
- EBYOBULAMU
Ng’oggyeko COVID-19 tujjukire ng’endwadde endala zikyaliwo nga Ssaabasajja Kabaka bwazze atukubiriza. Mbakubiriza okwekuuma ennyo. Abazadde twongere okukuuma abaana baffe. Bangi bazadde bannaabwe nga bato nnyo , bafunye mukenenya, bagweredde mu njaga, Omwenge n’embeera nyingi ezikosa obulamu . Buganda edda ku Ntiiko yetaaga abaana n’Abavubuka abalamu.
- EBYENFUNA N’OBULIMI
Wewaawo ensi yonna eri mu katuubagiro mu kkowe lino ,naye embeera eri mu Buganda bw’oyita mu bibuga n’amasoso g’ebyalo yeraliikiriza. Buli kitundu ky’oyitamu osigala webuuza abantu bano babeerawo batya? Balya ki? Ensimbi ezisomesa abaana n’okufuna obujjanjabi bazijjawa?, Buganda etasobola kweriisa nakweyimirizaawo mu byenfuna, abavubuka baayo tebasobola kuva ku maviivi mu kusabiriza Gavumenti.
Tuzuukuke, twerwaneko, tuddeyo tukole. Mbajukizza 2030 wanaatuukira, mu Uganda tujja kuba n’obungi bwa bantu obukadde 60 , mu 2050 tujja kuba mu bukadde 100 . Wano waliwo omukisa bwetweteekateeka .
- ENSONGA Z’ETTAKA.
Kyeyolese lwatu ng’olutalo lulangiriddwa okunyaga ettaka lya Buganda . Buganda Bwakabaka okunywera kwabwo butuula ku ttaka era ng’ensalo zaabwo zinywezeddwa. Kino kye kitundu kyokka mu Ggwanga lino ekiwadde buli muntu omukisa okusenga nga bwayagala, naye mu nkola y’okutwawula yawula basobole okutufuga leero ettaka lifuuliddwa eky’okulwanyisa . Nsuubira banaffe okuva mu bitundu ebirala banaategeera akabi akayinza okuva mu kunyigiriza Buganda mu nsonga z’ettaka . Abavubuuka temuzingira mikono mabega ng’ettaka lya Buganda linyagibwa ku kifuba oba nga banaffe beyambisa obuyinza n’omusimbi wakati mu bwavu obungi. Buno bwe Bwakabaka bwaffe tetulinayo bulala . Twetaaga obumu okuviira ddala mu mpya zaffe. Mukendeeze entalo mu mpya zammwe zonna tusobole okwanganga ekizibu kino .
- OBUTONDE BWENSI
Tetuyina Buganda okujjako nga tutaasizza n’okukuuma obutonde bwensi. Guno mulimu gwa Bavubuka okukira bakadde baffe. Tukole buli ekisoboka tutaase Buganda.
- ENKOLAGANA N’EBITUNDU BY’EGGWANGA EBIRALA
Nja kubasaba wakati mu kunyigirizibwa , okusosolwa n’okutyoboolwa ffe tugende mu maaso nga banaffe tubasembeza . Uganda ntono era buli omu yetaaga munne. Ebitusoomooza nga bannayuganda era ebitugatta bikira ebitwawula.Wadde nga kaweefube akolebwa okubakyayisa ebitundu by’eGgwanga ebirala mu lwatu ne mu kyama, tusigale ku mulamwa kye kitufuula abantu abagasa.
- OBUKULEMBEZE
Twenyigire mu nteekateeka zonna ez’obukulembeze ku mitendera gyonna. Kino kikolebwe ssi mu ngeri y’okweggaggawaza nedda, Naye okuyamba abantu baffe okubatusaako obuweereza n’okukyusa Obulamu bwabwe. Mube n’ebisaanyizo ebikira ku buyigirize ebikola omukulembeze atuuse ku ddaala erikulembera abalala .Mweteeketeeke nga bwemuteekateekebwa bannange.
- OBUWANGWA NE NONO
Kikulu okunyweza obuwangwa n’ennono kuba bye binnyonnyola ki kye tuli era bye bitwawula ku bannaffe abalala. Ensi yonna ejja efuuka ekyalo kimu mu ngeri y’omugundu . Tulina okuba abegendereza kuba tusobola okusaanawo ne tubulira mu muggundu guno .
Ensangi zino tuli mu mbeera ya nsomba byuma nga buli kintu tukyaniriza . Enkola y’emikolo evudde ku nnono n’obuwangwa, okudiibuuda ensimbi mu bitagasa n’emikolo , ennyambala , Olulimi , obutaagala kukola , okweraga , amalala bisusse . Temufuuka nsomba byuma . Buli Ggwanga bweriva ku musingi gw’ennono n’obuwangwa bwalyo lisaanawo .
- OBUBONDO BW’OKULOWOOZA
Abavubuka mbasaba mu Buganda wonna mwekolemu obubondo buno mwe mulowooleza n’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga enkulu mu bitundu byammwe , mu Buganda ne Uganda . Tetujja kwesitala bwesitazi oba okwekoona ku mikisa mu byonna byetwetaaga okutuukako naye tulina okulowooza , okwekeneenya n’okufumiitiriza bwetuba abokuzza Buganda Ku Ntikko.
Ensonga zino zonna nga bwe bwezirambikiddwa, mu kuzimba Ennambika y’Abavubuka twazissaako essira era mbasaba nga efulumye mugisome . Nga minisitule amaanyi gaffe tugatadde mu kuzimba omusingi omugumu ogw’omuvubuka agasa, nga yeyimirizaawo era nga aweereza Obwakabaka bwe. Amabago agawerako gazimbiddwa obuwagizi bwammwe n’ebirowozzo byanirizibwa mu Nteekateeka zonna.
Mbaagaliza omwaka omuggya ogw’emirembe, okukola obutaweera n’obulamu obulungi
Henry Sekabembe Kiberu
Minisita w’abavubuka,Emizannyo N’okwewummuza
Obwakabaka bwa Buganda.