Bya Ssemakula John
Kampala
Ab’ebyokwerinda bategeezezza nti bagaziyizza ekitimba kyabwe nga banoonyereza ku ttemu erikolebwa ku bapoliisi ku bigambibwa nti wandibaawo abayeekera abagezaako okukola obulumbaganyi buno nga bagezaako okutambula emirembe egiriwo.
Obulumbaganyi obw’enjawulo bukoleddwa ku bapoliisi ab’enjawulo mu myezi egiyise, abamu ne battibwa n’emmundu zaabwe ne zitwalibwa abantu abatannamanyika.
Ekisembyewo bwe bulumbaganyi obwakoleddwa ku bapoliisi ku poliisi e Nakasozi mu Kiboga, abapoliisi babiri ne battibwa okwabadde n’agitwala era n’emmundu zaabwe ne zitwalibwa.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Mmande, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga agambye nti bagaziyizza okunoonyereza kwabwe okuzuula akakwate ku bulumbaganyi buno n’abayeekera.
“Twegenderezza ng’obulumbaganyi buno bwa njawulo kuba balumba babyakwerinda ne batwala emmundu zonna. Bye tuwulidde e Ssekanyonyi mu Mityana ne Nakasozi (Kiboga) kuba bano baabadde baleekaana nti ‘mirembe’ ekiraga nti balina ekigendererwa ekinene.” Enanga bw’ategeezezza.
Ono agamba nti wadde okusooka baali balowooza nti bano bazzi bamisango abaabulijjo, naye embeera si bweri kuba bano batunuulidde kimu babyakwerinda.
Okusinziira ku Enanga, abapoliisi abaakalumbibwa baweze 6 mu myezi ena egiyise era bano emmundu zaabwe eziwera 6 nazo zitwaliddwa.
Enanga agamba nti bantu nga bano bazze babeerawo n’awa eky’okyokulabirako kya Maj. Herbert Kikomeko Itongwa n’ekibiina kye ekya Uganda National Democratic Alliance (UNDA) awamu n’ekirala ekyali kiteekebwamu ssente, Dr.Aggrey Kiyingi okugezaako okutabangula emirembe mu ggwanga.
Ono asabye bannayuganda okusigala nga bagumu kuba ab’ebyokwerinda baakukola ku batujju bano era babawangule.