
Bya Ssemakula John
Kayunga
Akaiiko k’ebyokulonda kalangiridde munnakibiina kya NRM, Andrew Muwonge nga ssentebe wa disitulikiti y’e Kayunga omuggya oluvannyuma lw’okuwangula akalulu akabaddemu vvaawompitewo owaamaanyi.
Akulira eby’okulonda e Kayunga, Jennifer Kyobutungi alangiridde Muwonge eri eggwanga ku makya ga leero ku Lwokutaano bw’afunye obululu 31,830 ate Munnakibiina kya NUP, Harriet Nakweede nafuna 31,380, ng’enjawulo abadde ya bululu 450 bwokka.
Akalulu kano kabaddemu abavuganya abawera mukaaga okuli; Majid Nyanzi eyakutte ekyokusatu n’obululu 1297, addiriddwa Musisi Boniface Bandikubi (Independent) n’obululu 470, Jamiru Kamoga, 279 ate Munnakibiina kya Democratic Party Anthony Wadimba n’afuna obululu 158.
“ Ng’akulira okulonda e Kayunga n’oluvannyuma lw’okugatta n’okukakasa obululu obubadde ku mpapula ezironderwako ng’etteeka bwe ligamba. Nangirira Muwonge Andrew afunye obululu obungi ng’omuwanguzi w’akalulu kano.”Kyobutungi bw’agambye.
Oluvannyuma lw’okulangirira abamu ku bawagizi be bajaguza era mu kwogerako gyebali Muwonge ategeezezza nti ayagala kulaba ng’obumu budda mu Kayunga basobole okugenda mu maaso.
Wabula okulangirira ebimu ku byavudde mu kulonda kwakeereyo nnyo ng’abakakiiko bagamba nti kyavudde ku byuma bikalimagezi bye baakozesezza okukyankalana wabula byamaze ne bitereera.
Wadde okugatta obululu kwatandise ku ssaawa 8 ez’okumakya ku Lwokuna, kitutte essaawa 13 nnamba okusobola okulangirira omuwanguzi w’akalulu kano.
Akulira eby’okulonda mu ggwanga, Omulamuzi Simon Byabakama yeebazizza abeesimbyewo ne baajenti baabwe olwobugumiikiriza bwe balaze n’abasaba nti Kayunga nkulu nnyo okusinga obuwanguzi bwabwe oba okufiirwa akalulu n’abasaba okwegatta bakolere abantu.
Nakweede abigaanye
Bino Nakweede abadde amaze essaawa eziwerera ddala 10 ng’agoberera akalulu abigaaniddewo n’ategeeza nti bibadde bikyusiddwa.
“Tekisoboka kubeera kituufu. Sisobola kubikkiriza. Okusinziira ku bye tulina waliwo enjawulo ya mutwalo gumu n’ekitundu, wano waliwo ekikyamu. Ebifo bingi gye baggye obululu ate nga businga abalonzi abaliyo.” Nakweede bw’annyonnyodde.
Nakweede era yeekokkodde engeri ab’ebyokwerinda gye baagobyemu abantu be okuli John Mary Ssebuwufu we babalira obululu n’ategeeza nti lino lyonna lyabadde kkobaane.









