
Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina ekitaba abasawo mu ggwanga ekya ‘Uganda Medical Association (UMA)’ basabye Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng n’omukungu wa Minisitule eno, Dr. Henry Mwebesa balekulire nga bagamba emirimu gibalemye.
Okusaba kuno bano bakukoledde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe batuuzizza mu Kampala ku Lwokusatu nga bagamba nti bano balemeddwa okuteeka ekiragiro kya Pulezidenti ekyali kiragira okubongeza omusaala n’okukola ku mbeera zaabwe mu nkola.
Akulira abasawo bano, Dr. Samuel Oledo Odongo ategeezezza nti batudde mu nkiiko eziwerako n’abakulu bano mu 2021 era basisinkana ne Pulezidenti Museveni n’abawa ebiragiro wabula tewali kyali kikyuse.
Okusinziira ku Odongo, Museveni yalagira aba Minisitule okuteekawo akakiiko akalina okulaba nga kino kiteekebwa mu nkola, okulongoosa embeera z’abasawo mu ggwanga lyonna naye tewali kyakyuka.
Ebimu ku bino mwalimu okulaba nti amalwaliro gonna gawa abasawo ssente obukadde bubiri n’ekitundu buli mwezi ate abali ku ddaala lya ‘Medical Officers’ baweebwe obukadde 5 buli mwaka.
Pulezidenti Museveni era yalagira omusolo ogusoloozebwa ku bano gusalibwe okuva ku bitundu 30 ku buli 100 okudda ku bitundu 10 ku buli 100.
Dr. Odongo agamba nti Pulezidenti era yalagira abasawo abafa ekirwadde kya Corona, abeng’anda zaabwe baliyirirwe naye nakyo tekyatuukirira.
Bano era bawakanya ebiri mu bbaluwa ya Dr. Mwebesa ng’agoba badokita abali mu kutendekebwa era n’abalagira okuva mu malwaliro gano ku Lwokutaano luno.
Ssaabawandiisi wa UMA, Dr. Luswata Herbert annyonnyodde nti ebiragiro bino bikyamu era bimenya mateeka era n’amuwa essaawa 48 nga bye yayogedde abimenyeewo.
Ekibiina kino kitaba badokita abawera 7000 mu ggwanga n’ebweru era kirina amatabi 14 mu ggwanga.









