
Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asiimye bannabitone abafaayo okutumbula emirimu gyabwe awamu n’okujagazisa abalala nga bayita mu kugwagala n’okuguwa ekitiibwa.
Bino Kamalabyonna Mayiga yabyogedde akwasibwa engule gye yawangudde ng’omuntu asukkulumye mu kuwandiika ekitabo ekikubiriza abantu okukola ekya ‘Work and Prosper’ mu mpaka za Janzi Awards ezaabadde e Kololo ng’eno eyamukwasiddwa Owek. Noah Wamala nga ye yagimunoneddeyo.

“Bwe nateekebwa ku lukalala nasanyuka nga bwe nakugamba kuba teri muntu atayagala kusiimibwa. Omuganda agamba nti ndyebaza ndya tagunjula munafu, kitegeeza nti buli muntu yenna ky’akola asaana okusiimibwa. Naye si gwe gwali gusoose mu 2009 nafulumya ekitabo kyange ekyasooka.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga agamba nti okulondebwa mu bantu abalala nga Owek. Joyce Mpanga ne Dr. Spire Ssentongo, kyabadde kya ssanyu gyali.
Ono yeebazizza abateesiteesi awamu n’abamulonze era ne yeebaza ne Owek. Noah Wamala era amutonedde ekitabo kino.
Owek. Mayiga akunze n’abantu abalala okufaayo okusoma ekitabo kino kuba obubaka obulimu busobola bulungi okukyusa obulamu bwabwe.









