
Bya Ssemakula John
Bulanege – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda butandise okulwanyisa obutabanguko mu maka nga ku luno, butandise na kubangula bakulembeze mu mitendera egy’enjawulo mu masaza ku bivaako obutanguko awamu n’ekirina okukolebwa, nga batandikidde mu ssaza ly’e Kyaddondo.
Bwe yabadde mu musomo guno ogwayindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano, Minisita avunaayizibwa ku kikula ky’abantu mu Bwakabaka, Owek. Dr. Prosperous Nankindu yakubirizza abazadde okuteekateeka obulungi abaana abalenzi kuba bakola kinene mu kumalawo obutabanguko buno.
Owek. Nankindu yalaze obwennyamivu ku bakyala abeefunyiridde okutulugunya abaami nga beesigama ku mwenkanonkano n’amateeka agalwanirira eddembe ly’abakyala, kye yagambye nti kirinnyirira eddembe ly’abaami n’abasaba okukyusaamu.

Minisita Nankindu mu ngeri yeemu yakubirizza abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okubeera ekyokulabirako ekisookerwako eri abantu be bakulembera naddala mu lutalo luno olw’okulinnya ekizibu kino ku nfeete, naddala mu biseera bino eby’ennaku enkulu ezisembedde.
Omwami w’essaza Kyaddondo, Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa yagambye nti wakyaliwo obwetaavu bw’okusomesa n’okubangula abantu ku bikwata ku butabanguko mu maka, kwe biva n’ebizibu by’ekizaala, okusobola okukimalawo ng’emisomo nga gino gyakuzannya omulimu munene.
Abamu ku baabangudde abakulembeze mu musomo guno okwabaddeko; Dr. Phiona Kalinda atwala ebyobulamu e Kyaddondo ne Florence Nabakenya, bagamba nti ebimu ku bivuddeko ekizubi kino okweyongera bwe buluvu bw’ensimbi mu bazadde n’ebirala.









