Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ng’aggulawo Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 29 nga 13 / 12/ 2021 ku Mmande ya wiiki ejja.
“Ng’ennaku z’omwezi 13 omwezi guno, Ssaabasajja asiimye okuggulawo Olukiiko lwaffe.” Owek. Mugumbule bw’annyonnyodde.
Kino kirangiriddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule bw’abadde ayogerako ne bannamawulire.
Sipiika Mugumbule agambye nti wadde abakiise bawera 200 naye mu lutuula luno bagenda kubeera 150 bokka be basuubira okulwetabamu era akakasizza nti wadde embeera ekyali ya Ssennyiga Corona naye ekisenge ky’Olukiiko kyazimbibwa okutuuza abakiise abawera 600, ekitegeeza nti bajja kuba beewadde bulungi amabanga.
Owek. Mugumbule era alaze ng’abakiise mu Lukiiko luno bwe balondebwa okuva mu bitongole n’obukugu obwenjawulo nga kino kye kiyamba okulung’amya obulungi ensonga kuba buli kika kya muntu ali mu Buganda akiikirirwa bulungi mu Lukiiiko luno.
Ku mulundi guno Sipiika Mugumbule agamba nti abagenyi ab’enjawulo awamu n’abantu ababeera mu kabanyi tebagenda kukkirizibwa olw’embeera ya Ssennyiga Corona. Bw’atyo asabye abantu okugoberera nga bayita ku mutimbagano ne BBS Terefayina.
Ono annyonnyodde nti enkiiko za Buganda bazibala okuva ku Lukiiko olwatuula nga Beene amaze okutikkirwa e Naggalabi era Olukiiko lwe yasooka okuggulawo lwe lwafuuka Olukiiko nnamba emu naye nga luweramu entuula mukaaga (6).
Owek. Mugumbule agamba nti ekirwadde kya Corona kibayambye okwettanira tekinologiya ne basobola okutwala emirimu gya Kabaka mu maaso kuba entuula zibadde zituulira ku mutimbagano nga beeyambisa enkola ya ‘ZOOM.’