
Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti nga eyita mubitongole okuli National Enviroment Management Authority wamu nekyekkaanya omutindo gw’ebintu mu ggwanga ekya Uganda Buereau of Standards balangiridde ebikwekweto ku kkampuni ezikola obuveera obutakkirizibwa okutaasa obutonde.
Abakulu mu bitongole bino bategeezezza bannamawulire mu Kampala nti balowooza nti kino kyakuyamba nnyo mu kutaasa obutonde bwensi obwongera okusaanawo buli kiseera.
Akulira ekitongole kya NEMA, Barirega Akankwasa agamba nti akaveera akasinga okubeera ak’obulabe nnyo eri obutonde bwensi kekali wanis wa ’30 microns’ era bakufuuza buli wamu okulaba nti bamalawo obuveera buno era mu kino bakuggala amakolero era asibwe emyaka egiwera 7.
Akankwasa akubirizza bannayuganda okwewala okukozesa akaveera nobucupa bwa Pulaasitiika bwebaba nga baagala okutaasa ebiseera byeggwanga lino ebyomumaaso.
Ate akulira ekibiina ekitaba abakola Pulaasitiiki ekya ‘Uganda Plastic Manufacturers and Recyclers Association, Moses Ategeka agamba nti gavumenti esaanidde okukwatagana nabali mu mulimu gwobuveera bweba nga eyagala okuggyamu obukyamu obuli ku katale.
Ono agamba mwetegefu okuyambako gavumenti nga agiiwa ezo kkampuni ezikola obuveera obutakkirizibwa mu mateeka.
Guno si gwemulundi ogusoose nga gavumenti evaayo namaanyi okulwanyisa obuveera kyokka ebbanga lyonna tewali kituukiddwako









