
Bya Francis Ndugwa
Entebbe – Busiro
Abantu abawangaalira ku mwalo gw’e Kigungu e Ntebe mu Busiro, bakeredde mu maziga oluvannyuma lw’omuliro ogwakutte omwalo guno okusaanyaawo ebintu bya bukadde na bukedde mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Abeerabiddeko bagamba nti omuliro guno gwatandise ku ssaawa emu eyakawungeezi ka Ssande era nga tebamanyi watuufu we gwatandikidde wabula nabo baalabye gwaka.
Ebintu ebyenjawulo omuli ensimbi, Obuyumba, ffiriigi, n’ebintu abantu bye babadde bakozesa mu bulamu obwabulijjo byasaanyeewo.
“Tetumanyi we tugenda kutandikira, omuliro twekanze mwekange era tetulina we tutandikira kutaasa bintu byaffe.” Kassim Kamya omu ku baakoseddwa bw’annyonnyodde omukutu guno.
Ono agamba nti akaseera Fire Brigade we yatuukidde nga terina kyamaanyi ky’eyinza kutaasa kuba ebintu ebisinga byabadde biweddewo.

Embeera eno y’ewalirizza omubaka w’ekitundu kino, Michael Kakembo okutuukayo era ku ky’alabye, asabye Ssaabaminisita Robina Nabbanja, ekitongole kya Red Cross awamu n’abantu b’omutima omulungi, okuyambako ku mbeera kuba abavubi abasoba mu 500 tebasigazza wadde akantu akamu.
Omwalo gw’e Kigungu gusangibwa wakati w’enkambi y’eggya lya UPDF awamu n’ekisaawe kya Entebbe International Airport era nga guliko abantu abawera emitwalo 3 omuli abavubi awamu n’abakola obusuubuzi obulala.
Era omwalo guno gukozesebwa nnyo abantu okudda mu bizinga by’e Ssese ne Bussi.
Mu kiseera kino poliisi yatandise dda okunoonyereza ekyavuddeko akabenje kano wabula n’esaba abatuuze okugiyambako era babeere bagumiikiriza.









